Bp. Kakooza atongozza Kasangalabi parish, eya 33 mu Lugazi diocese

2 minutes, 32 seconds Read

Mu kaweefube w’okusembereza Abakrsitu obuweereza bwa Klezia, Omusumba w’essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza agguddewo ekigo eky’amakumi asatu mw’ebisatu (33) mu ssaza lino.

St. Anthony of Padua Kasangalabi kye kigo ekyagguddwawo ku Mmande ku lunaku Ugana kwe yafunira ameefuga. Kino kisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono mu disitulikiti y’e Mukono.

Bp. Kakooza ekigo kino yakitongozezza nga kyekutudde ku kya St. Paul e Mukono ku lunaku lwe lumu Uganda kwe yafunira obwetwaze okuva mu mikono gy’Abazungu emyaka 61 egiyiseewo.

Fr. Gyaviira Kimuli ye Musoosordooti Bp. Kakooza gwe yakwasizza ekigo kino eky’e Kasangalabi okukitandika n’amaanyi, n’enkulaakulana ssaako okuzimba Abakristu mu mwoyo ne mu mibiri.

Bp. Kakooza ng’ayogera ne Fr. Gyaviira Kimuli, bwanamukulu w’ekigo ky’e Kasangalabi asoose.

Ng’atongoza ekigo eky’asatu mw’ebibiri (32) ekya Buguju nga nakyo kyakutulwa ku kya St. Paul mu December w’omwaka oguwedde, Bp. Kakooza yategeeza nti ng’omwaka guno tegunnaggwako, ayagala ekibuga ky’e Mukono kibeere nga kirimu ebigo bina nga mu kiseera kino, biweze ebigo bisatu okuli St. Paul, Buguju ne Kaasangalabi.

Bp. Kakooza yategeeza nti ekibuga Mukono kirimu enkulaakulana ya maanyi, abantu bangi nnyo nga n’olw’ekyo bano tebasaanidde kukaluubirizibwa nga banoonya ababalyowa emyoyo.

Omusumba yakuutiridde Fr. Gyaviira nti Abakristu abamukwasiddwa mu kigo kino nti alina okubaliisa ekigambo kya Katonda buli lunaku ewatali kwosaamu.

Fr. Paul Ssebitoogo, bwanamukulu w’ekigo kya St. Paul ekibadde kitwala Kasangalabi yategeezezza nti kikolebwa ebisomesa mukaaga okuli; Kasangalabi, Nakabago, Kirangira, Lwanyonyi, Nakapinyi ne Kivuuvu.

Don’t Condone Indisciplined Candidates-Fr. Kiibi tells School Heads

Fr. Gyaviira ng’abadde capuleyini w’essomero lya Mt. St. Mary’s College Namagunga yategeezezza ng’ebbanga lye erisinga bw’abadde alimaze mu masomero nga yaliko omukulu w’ekigo okumala ebbanga lya mwaka gumu gwokka.

Abakristu nga baaniriza Bp. Kakooza e Kasangalabi.

Yasuubizza okukola ekisoboka naddala ng’akwatiza wamu n’Abakristu balabe nga basitula n’okutwala mu maaso ekigo kino.

Ye Msgr. Richard Kayondo nga ye muyambi wa Bp. Kakooza yalungamizza ab’e Kasangalabi ku ngeri gye balina okuddukanyaamu ekifo naddala ku bintu ebikulu bye balina okuteekako essira oksungira ddala munda mu klezia.

Yanokoddeyo eky’okuzimba alutaali eyasituka situka, okuzimba ttabenankulu nga bino bye bimu ku bikulu bye balina okusookerako.

Aba Mt. St. Mary’s College Namagunga nga bakwasa Fr. Kimuli ekilabo nga bamusiibula.

Omubaka wa munisipaali y’e Mukono mu palamenti, Betty Nambooze Bakireke ng’agwa mu kigo kino ekipya eky’e Kasangalabi mu kisomesa ky’e Nakabago yasiimye Bp. Kakooza olw’enkulaakulana z’akoze mu ssaza omuli n’okusombereza Abakristu empeereza za Klezia.

Ab’e Namagunga Fr. Gyaviira gy’awangaalidde ebbanga baamuwerekeddeko ne bamuwa n’ebirabo eby’enjawulo nga bamusiima n’okumusiibula.

Omusumba Kakooza ng’ali n’abagenyi abalala baalambudde ennyumba Abakristu gye baazimbye egenda okusulwamu ba Ffaaza mu kifo kino n’abasaba batereeze n’ebikyasigadde ne Ffaaza ow’okubiri naye amubaweereze.

Also Read; 

Seeta Junior School Donates to Mapeera Bakateyamba’s Home

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!