Dr Kirabo asibiddwa emyaka 30 lwa kutta muganziwe

4 minutes, 33 seconds Read

“Kirabo ddokita era mu kiseera ng’awoza ava waka, yasoma n’amala, aliko obulamu bw’abantu bangi bwe yataasa. Ku myaka emito 32 gyokka gy’alina, eggwanga limulinamu nnyo essuubi naddala nga bwe kimanyiddwa nti eggwanga lirina ebbula lya baddokita nga ye. Nsaba kkooti ensonga eyo egitunulemu emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu,” Kunya munnamateeka wa Kirabo bwe yategeezezza kkooti.

Dr Mathew Kirabo eyasingisibwa omusango gw’okutta eyali muganziwe Desire Mirembe mu kiseera we yatolokera mu ggwanga n’addukira mu Kenya asibiddwa emyaka 30 gy’agenda okukulungula mu kkomera.

Omulamuzi wa kkooti enkulu Henry Kaweesi y’asomedde Kirabo ekibonerezo oluvannyuma lwa poliisi y’ensi yonna okumukwatira mu ggwanga ly’e Kenya gye yali yaddukira n’emukomyawo okwaboobo n’asindikibwa mu kkomera e Luzira ng’eno gye yaggyiddwa ku Lwokubiri okutwlaibwa mu kkooti e Mukono okufuna ekibonerezo mu musango ogwamukka mu vvi nga taliiwo.

Dr. Mathew Kirabo.

Kirabo yasingisibwa omusango gw’okutta eyali muganziwe Desire Mirembe bwe baali basoma obusawo mu Makerere University nga May 30.

Kirabo yatuusiddwa ku kkooti mu bukuumi obw’enjawulo mu bbaasi y’ekitongole ky’amakomera wamu n’abasibe abalala abavudde mu kkomera e Luzira.

Ono yabadde mu mujoozi ogw’ekikuusikuusi n’empale eya kivuuvu ssaako engatto enzirugavu. Kirabo yabadde ku mpungu, ng’akutte akacupa ka ssooda n’obutabo ekika kya notebook.

Ono yasoose kutwalibwa mu kaduukulu ka kkooti gye yabadde okumala akaseera ka ssaaawa ng’emu n’ekitundu okutuusa omulamuzi lwe yatuuse. Omulamuzi yayingidde mu kkooti wabula ng’ate omusibe mu kkooti taliimu n’asooka addayo ne baleeta omusibe olwo n’akomawo okuwulira omusango ne kugenda mu maaso.

Dr. Kirabo yabadde awolerezebwa bannamateeka abakulembeddwa Henry Kunya sso ng’oludda oluwaabi ddwo lwakulembeddwamu omuwaabi wa gavumenti Happiness Ainebyona.

Ainebyona yawadde ebitonotono ebikwata ku musango guno nga yategeezezza nga Dr. Kirabo bwe yasingisibwa omusango mu butaliiwo bwe yudduka n’agenda mu Kenya bwe yali awozesebwaa ng’ava waka ku kakalu ka kkooti. Omusango ogwasinga Kirabo gwa kutta Desire Mirembe eyali muganziwe ng’asoma obusawo  mu yunivasite e Makerere mu mwaka gwa 2015.

Desire Mirembe

“Omutemu yasala Mirembe ekiso mu bulago n’amutta omulambo n’agukuluggusaa n’agusuula mu bikajjo e Lugazi,” Ainebyona bwe yategeezezza.

Wabula, poliisi ya Interpol yakwata Kirabo mu ggwanga lya Kenya nga September 12, 2023 n’emuweereza ginnaayo eya Uganda  enkeera waalwo nga September 13, 2023, ono yasimbibwa mu kkooti enkulu e Mukono n’asindikibwa mu kkomera e Luzira nga September 15, 2023.

Ainebyona yategeezezza nti Kirabo okumala emyaka 8 ng’awozesebwa mu musango guno n’okutuuka olwaleero talazeeko nti amenyese olw’omusango gwe yazza ow’okutta omuwala omuto ku myaka 19 gyokka gye yalina nga n’eby’embi, ono ye yali omwana omuwala yekka owa Emmanuel Musoke nga kati yasigaza omwana omu yekka omulenzi mu bulamu.

Ono yasabye kkooti ewe Kirabo ekibonerezo ekisingira ddala obukakali nga kye eky’okuttibwa.

Emmanuel Musoke taata w’omugenzi Desire Mirembe bwe yaweereddwa akakisa okubaako ky’ayogera, yakaabizza ababadde mu kkooti amaziga bwe yategeezezza nti okuttibwa kwa muwalawe kwamuleka ebbwa ddene ku mutima nga ne bwe buliba ddi teririwona. Musoke yagambye nti eky’okutta Kirabo kiyinza obutakola makulu kuba Mirembe tagenda kudda wabula n’asaba kkooti emuwe ekibonerezo yo ky’ewulira ekimusaanidde.

Wabula munnamateeka w’omuwawaabirwa Kunya yawakanyizza ekibonerezo ekyasabiddwa Ainebyona n’agamba nti ono guno gwe mulundi gwe ogusoose okuzza omusango nga n’olw’ekyo teri nsonga lwaki aweebwaa ekibonerezo eky’enkomeredde.

“Kirabo ddokita era mu kiseera ng’awoza ava waka, yasoma n’amala, aliko obulamu bw’abantu bangi bwe yataasa. Ku myaka emito 32 gyokka gy’alina, eggwanga limulinamu nnyo essuubi naddala nga bwe kimanyiddwa nti eggwanga lirina ebbula lya baddokita nga ye. Nsaba kkooti ensonga eyo egitunulemu emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu,” Kunya munnamateeka wa Kirabo bwe yategeezezza kkooti.

Mathew Kirabo ku mpingu ng’atuusibwa ku kkooti e Mukono, mu katono ye mugenzi Desire Mirembe eyattibwa.

Yasabye ne Kirabo okuweebwa omukisa abeereko ky’ayogera mu kkooti omulamuzi kye yakkirizza.  Ng’ayogera eri kkooti, Kirabo yasoose kusaasira ba ffamire y’omugenzi wadde ng’ate yagaanye okukkiriza nga bwe yazza omusango guno.

Yategeezezza nti oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okuleeta obujulizi bwa vidiyo ng’akkiriza nga bwe yazza omusango, nti kyamukuba encukwe n’atya ng’alaba kyali kimaze okumusingisa omusango wadde ng’ate ye teyaguzza, ne kimuviirako okudduka mu ggwanga n’agenda e Kenya gye yasaba obubudamu.

Yagambye nti vidiyo eno yakwatibwa oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa bwe yasibibwa mu kkomera e Nalufenya mu kibuga ky’e Jinja nga y’ensonga lwaki yakkiriza okuzza omusango guno.

Wabula omuwaabi wa gavumenti Ainebyona eby’okutulugunyizibwa kwa Kirabo yabisambazze n’agamba nti emyaka munaana gye bamaze nga bawozaa omusango guno, tayogerangako nti yatulugunyizibwa n’agamba nti wabula waddembe okwogera buli kimu ky’awulira nga kiyinza okumuyamba okufuna ekibonerezo ekisaamusaamu kuba ggwo omusango gwamukka dda mu vvi.

N’Omulamuzi ebigambo bya Kirabo yabigaanye ng’agamba nti obudde obw’okwewolereza bwaggwako n’amusaba asabe ky’ayagala kkooti emukolere nga tennamuwa nsala ye mu musango guno. Kirabo yasabye kkooti okumuwa ekibonerezo ekisaamusaamu.

Omulamuzi yamusomedde ekibonerezo eky’emyaka 30 mu kkomera wabula n’amuddiramu nti omwezi ogumu n’ennaku omusanvu z’amaze ku limandi okuva lwe yakomezebwawo mu ggwanga okuva gye yali yaddukira baliggyeko.

Frank Gashumba ayambye nnyo ffamire y’omugenzi okufuna obwenkanya yalaze obutali bumativu n’agamba nti olw’omutima Kirabo gwe yakozesa n’asala omwana wa bandi omuto ng’atta enkoko, abadde agwana kusibibwa mayisa kuba emyaka asatu oluliggwako waakufuluma ekkomera atandikire we yakoma.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!