Story ya Insight Post UG
Kkansala ku lukiiko lwa Mukono Central divizoni, Fred Kiyimba essanyu alina lya mwoki wa gonja oluvannyuma lw’abatuuze okwekolamu omulimu ne bamusondera amannyo amazungu ne bamuwonya ekizibu ky’amalibu.
Kiyimba amannyo gaamusondeddwa bammemba ku mukutu gwa WhatsApp ogumanyiddwa nga ‘Mukono Municipality for All’ ng’enteekateeka zino zaakulemberwamu omumyuka wa RDC w’e Mukono, Mike Ssegawa.
Bano okuvaayo kyaddirira kkansala Kiyimba okufulumya eddoboozi ku mukutu guno nga yeekokkola omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke gwe yagamba nti yali asusse okumuyeeya n’okumuvuma amalibu ng’alinga agamba nti amalibu bwali bulwadde bwa lukonvuba.
Ssegawa yasaba bannamukutu guno ne Bannamukono okutwalira ewaamu okuvaayo badduukirire kkansala Kiyimba naye asobole okufuna amannyo awone okuvumwanga oba oly’awo atandike n’okuseka mu lujjudde nga tali mu bya kwekokoota nga y’etya olw’abo abaali bamufudde eky’okuzannyisa olw’amalibu obulimu.
District Police Boss-RDC Romance Compromising District Security
Kiyimba nga yali muyambi wa Nambooze okumala ekiseera nga n’akalulu ka 2021 baali mu nkambi y’emu ng’era bombi bali ku kkaadi za NUP wadde ng’oluvannyuma lw’akalulu baafuna obutakkaanya, yagamba nti ebbanga eddene lye yamala ng’amuweereza yagamba nti yalina n’ebyama bingi ebya Nambooze by’asirikidde, wabula nga bwe yali akyali naye nga balinnya mu kimu teyamuvumanga malibu nga yakitandika luvannyuma lwa kumwabulira.
“Bwe nnali nva ew’omubaka nnamutegeeza mu buwandiike ne mmusiibula, era ne nneeyama obutayogera byama bye nnali mmanyi ebirimu omubaka. N’ebigambo bye njogera olwaleero nnina ennaku ya maanyi ku mutima n’amaziga aganyunguka kwe kusalawo mbyogere olw’omubaka okunfuula ekisekererwa. Lwaki omuntu omukulu ku kitiibwa ky’omubaka yandisazeewo okunfuula ekivume olw’amalibu ge nnafuna obukulu ate nga sseeyagalira,” Kiyimba bw’annyonnyola mu ddoboozi.
Kigambibwa nti Kiyimba eyali omugoba wa bodaboda yafuna akabenje ka pikipiki ne kamuleka nga kamuwanguddemu amannyo.
Enteekateeka z’okusondera Kiyimba ensimbi ezigula amannyo amazungu zaatandika mu November w’omwaka oguwedde nga we twogerera Kiyimba yafulumizza ebifaananyi eby’enjawulo ng’asinise amannyo ku ngulu ng’amwenya n’akudaalira abaali bamuvuma amalimu nti kati baggye bamulabe.
Ensimbi ezigambibwa okukunukkiriza mu bukadde bubiri nga zaakwatibwa bakkansala okuli Phoebe Babirye ne Ritah Nandyose ng’enteekateeka eno baasaba waakiri buli muntu aweeyo nnusu lukumi. Amannyo Kiyimba baagamuteeramu ku Mukono Medical Centre nga Dr. Hussein Ziraba ye yakola omulimu guno.
Ng’ayanukula ebya Kiyimba, Omubaka Nambooze ng’ayita ku mikutu gi mugatta bantu yalaga obutali bumativu olwa Kiyimba okukimuteekako nga bwe yali amusimbyeko olukongoolo olw’amalibu ssaako obutamuyamba kugula mannyo mu kiseera we yabeerera ewuwe n’agamba nti ye abayambi be abasasula omusaala nga ssinga Kiyimba yali ayagala, yandibadde akozesa ku nsimbi ze ez’omusaala n’agula amannyo amazungu.
Nambooze yategeeza nti Kiyimba okutandika okutiisatiisa nga bwe yali alina ebyama bye yali mu kuzannya byabufuzi na kwagala kumusiiga nziro kuba talina byama bye by’ayogerako ng’atiisatiisa.