Pope Francis

Pope Francis Asonze ku Kifo W’ayagala Okuziikibwa Ng’afudde

0 minutes, 39 seconds Read

 Omulangira wa Klezia, Omutukuvu Pope Francis asonze ku kifo w’ayagala okuziikibwa nga afudde.

Bwe yabadde ayogerako n’omukutu gw’amawulire ogumu olunaku lw’eggulo, Paapa Francis yategeezezza nti wakuziikibwa mu Klezia ya Santa Maria Maggiore esangibwa mu kibuga Roma okwawukanako ne banne abaazikibwa mu Klezia ya St Peter’s Basilica nga nayo eri mu Roma.

Paapa obutaziikibwa mu Klezia ya St Peters’ Basilica kyali kyakoma okubaawo emyaka 100 egiyise ku Paapa Leo XIII eyaziikibwa mu Klezia ya St John the Lateran e Roma.

Paapa era yategeezezza nti singa aneesanga ng’embeera y’obulamu bwe tekyamusobozesa kuweereza, ajja kulekulira nga Paapa Benedict bwe yakola. Wabula Paapa yagambye nti  eky’okulekulira  kwa Bapaapa tebasaanye kukifuula  nga kintu kya bulijjo.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!