Embeera Y’essomero lya St. Peters Ekaabya Amaziga-Abayizi Basomera mu Bisiikirize Bya Miti

2 minutes, 32 seconds Read
Omusomesa ng’asomesa abayizi wansi w’omuti.

Mu kaweefube w’okwagala okuyamba abaana mu bizinga by’e Buvuma okufuna omukisa ogusomako, omusumba w’ekkanisa atwala ebizinga by’e Buvuma Rev. Brian Kiggundu yatandika essomero lya St. Peters Nursery and Primary School erisangibwa ku kitebe ky’obusumba e Walwanda mu Buvuma tawuni kkanso. Wabula embeera essomero lino gye lirimu mu kiseera kino yetaaga ssaala oba tugambe nti eyungula ezziga.

Okusinziira ku Rev. Kiggundu, lirina abayizi abakunukkiriza mu 600 naye nga teririna wadde ekibiina ekizimbe ne bbulooka nga lirinawo akabaawo abayizi abamu mwe basomera ng’ebibiina ebisigadde bakozesa bisiikirize bya miti.

Essomero lya St. Peters C/U Walwanda lirina ebibiina okuva ku ‘Baby’ okutuuka ku P.7 nga Rev. Kiggundu agamba nti okulitandika yalaba ng’abazadde mu kitundu tebalina ssomero mwe basomeseza bayizi olw’obutaba na nsimbi nga wano abamu batuuka n’okubasindika ku ssomero nga tebalina wadde kkalaamu  oba ekitabo.

We tutuukidde ku ssomero, ng’okusoma mu bibiina eby’enjawulo kugenda mu maaso naye ng’abayizi bali wansi wa miti mwe batudde bagenda mu maaso n’okukwazza emisomo. wabula wadde guli bweguti, bbo abasomesa tebasanga buzibu kukola gubasasuza, ennoni bagikuuta buteddiza.

Omusomesa ng’asomesa abayizi wansi w’omuti ogukola ng’ebibiina bibiri.

Rev. Kiggundu agamba nti yawalirizibwa n’okubeerako abayizi be yajja mu bazadde baabwe olw’embeera gye babeeramu nga babeera mu nkambi ng’ebibeera eyo si birungi ebireetera abayizi okuva ku by’okusoma n’okwonooneka mu mbeera ez’enjawulo.

Omubuulizi w’ekkanisa eno Ivan Ssekubunga naye annyonnyodde embeera essomero lino gye litambuliramu n’agamba nti lyetaaga buyambi kuba abazadde bbo abaana babaweereza mu bungi naye obuzibu bwe balina bwa kubasaba nsimbi.

Ssekubunga agamba nti olw’okugotaana mu mulimu gw’okuvuba nga kati n’abaali bavuba mukene baabayimirizza, embeera y’abantu mu bizinga si nnungi n’akatono ng’abamu n’eky’okulya kituuka okubabula nga mu mbeera eyo, kizibu ate okusaba omuntu ekika ekyo ssente ez’ebisale by’essomero.

Omubaka w’e Buvuma mu palamenti, Robert Migadde Ndugwa agamba nti bbo ng’abakulembeze essira basinze kuliteeka ku kusakira masomero ga gavumenti era nti ggo embeera gye galimu si mbi.

Rev. Brian Kiggundu, omusumba w’obusumba bw’e Buvuma ng’ayogera, emabega ng’abayizi wansi w’omunti ng’omusoma kugenda mu maaso.

Wabula Migadde asabye abazadde balowooze ku ky’okusasulira abaana baabwe ensimbi basomere mu bisulo kuba ewaka gye babeera mu nkambi embeera ezibeerayo nnyingi ezibatataaganya nga tebayinza kusoma.

Akulira eby’enjigiriza mu disitulikiti y’e Buvuma, Hussein Bugembe ayogedde ku mbeera y’essomero lino n’agamba nti ekkanisa yaliwaayo mu gavumenti nabo ne baliweereza be kikwatako mu minisitule y’eby’enjigiriza nga bwe banaaliyingiza mu ga gavumenti lwe bajja okufuna ensimbi ezirizimba.

Ye Rev. Kiggundu asabye abazira kisa okubadduukirira okulaba nga basitula ku kifaananyi ky’essomero lino. Alina obuyambi osobola okutuuka ku Rev. Kiggundu ku nnamba y’essimu 0757429792 mu mannya ga Brian Kiggundu.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!