Otafiire Alagidde Abasirikale Abaakuba Ab’e Nama Bakangavvulwe-Abaakubwa Abeetondedde

5 minutes, 13 seconds Read

Gen. Otafiire ng’ayogera ne RPC Joab Wabwire, ku kkono ye mubaka Mulimamayuuni.

Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Gen. Kahinda Otafiire yasitukiddemu okutuuka ku kyalo ky’e Katoogo mu muluka gw’e Katoogo mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono ebadde esusse okubeera obunkenke olw’ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka okweyongera.

Bino mulimu obubbi bwa bodaboda n’okutta abagoba baazo ng’abatemu bano babadde basusse ate nga poliisi n’aby’eby’okwerinda tebalina kye bakolawo ekyaggya abatuuze mu mbeera ne basalawo okutwalira amateeka mu ngalo nga batta be baateebereza okubeera emabega w’obubbi obwo n’okwonoona ebintu byabwe.

Abagoba ba bodaboda babiri be baavaako kalumanywera bwe battibwa mu kiro kimu ne pikipiki zaabwe ne zibbibwa. Abattibwa kuliko Richard Mawanda (56) ne Sande Ssemanda (35) ng’emirambo gya banpo gyasuulibwa mu bidiba ku kyalo Kakoola ekisangibwa mu muluka gwe gumu ogw’e Katoogo nga pikipiki zaabwe zabbibwa.

Abatuuze beekolamu omulimu enkeera ne batta be baateebereza okuba abatemu babiri n’emirambo gyabwe ne bagyokya nga n’enkeera batta babiri. Okusinziira ku mumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, ababiri abasooka okuttibwa abatuuze nga babateeberezza okuba ababbi ba bodaboda baategeerekeka nga Junior Masiga ne Abdallah Ssemujju ng’abasigadde tebaategeerekeka.

Poliisi yasitukiramu n’ekwata abantu abaasukka mu 35 nga mu bano mwe muli n’abekulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuli bassentebe b’ebyalo ne bakkansala wabula ng’abatuuze okuva kw’olwo babaddenga baliira ku nsiko nga batya poliisi okubayoola.

Eyali omubaka wa palamenti owa Mukono North, Ronald Kibuule yawandiikidde Minisita Otafiire ayogereko ne basajjabe ssaako okuwuliriza okukaaba kw’abatuuze abeemulugunya ku byalo byabwe okufuuka akattiro naye nga poliisi okuleka okubayoola n’ebavunaana ogw’okutwalira amateeka mu ngalo, ate bbo bwe battibwa n’ebyabwe okuli ne pikipiki za bodaboda ne zibbibwa, poliisi terina ky’ekolawo.

Eyali Omubaka wa Mukono North Ronald Kibuule ng’ayogera.

Mu kikwekweto ky’okukwata abateeberezebwa okuba abeenyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo, abamu ku bakulembeze abaakwatibwa mwe muli bakkansala okuli Paul Kawombe akiikirira omuluka gw’e Bulika ne Sowedi Lwanga akiikirira omuluka gw’e Bulika ssaako bassentebe b’ebyalo okuli ow’e Waluga, Sulaiman Katambala nga bano baategeezezza Otafiire nti abasirikale ab’amagye abaakola ekikwekweto baabakuba emiggo bonna emigongo giggyudde nkovu.

Katambala yagambye nti wadde baagezaako okwogera n’abasirikale nti e Katoogo we baabakwatira si we waali ettemu ery’okutwalira amateeka mu ngalo nga tebawulira nga lyali ku byalo okuli; Kakoola gye battira omu kw’abo ate omulala ne bamuttira e Ssaamuuka ebiri mu muluka gw’e Katoogo ate ababiri ne babattira e Wakiso ekiri mu muluka gw’e Bulika.

Abatwala divizoni ya poliisi y’e Mukono, Isaac Mugera (ku kkono) ne DPC Edrisa Kyeyune.

“Eky’ennaku kwe kuba nti mu be baakwata mwalimu babiri nga baana b’amasomero nga n’omu yalaajana n’alaga n’abasirikale ID y’essomero nti baali bamugobye ng’addayo waka kunona bisale bya ssomero wabula tebaawuliriza. Bano baakuba amasasi okumala eddakiika nga musanvu nga tegasirika wadde ng’ebyo okubikolwa tewaaliwo wadde omuntu eyali akasuka ejjinja oba okukuba enduulu nga n’enkuba yali etonnya. Ebikolwa ebyo abakuuma ddembe beetaaga okubyewala, kiba kikyamu ate okumenya amateeka ng’oli mukuuma ddembe nga weerimbise mu kukwasisa amateeka!” bwe yannyonnyodde.

Yagasseeko nti baabakuba emiggo nga bonna bajjudde enkovu n’ebisago mu migongo nga y’ensonga lwaki okuva kw’olwo, abatuuze babaddenga baliira ku nsiko nga buli lwe balengera emmotoka ya poliisi nga badduka kwekukuma.

Bano baaloopye n’abapoliisi y’e Mukono be baagambye nti baasoloozanga ssente mu b’enganda z’abasibe abangi ddala be baakwata ng’okulaba obulabi omusibe ng’oli asooka kusasula ssente nga n’abo be baata akakalu ka poliisi baakasasulira bukadde bwa nsimbi.

Ssentebe Katambala ng’ayogera, abayimiridde be bamu ku basibe poliisi be yamukwata nabo oluvannyuma n’ebata.

Baategeezezza Gen. Otafiire nti abasibe 13 poliisi be yasalawo okutwala mu kkooti ne babaggulako ogw’obutemu baalemererwa kufuna nsimbi ze bawa basirikale nga bbo be baata bwe baakola ne basaba bakole okunoonyereza okutuufu basibe abantu abatuufu sso si abo abaavu abaalemererwa okwegula okuva ku poliisi.

Omubaka wa palamenti owa Mukono North, Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni  naye yagasse ku kazito ku k’abatuuze n’agamba nti kikyamu abasirikale okudda ku bantu ne babakuba ng’abakuba ensolo.

“Ssebo Gen. Otafiire, kirungi nti osituse ne weelabirako n’okuwulira ne weewulirirako, kati emisango gy’obutemu givunaanibwa baavu ne bwe baba tebaagizza. Lwaki poliisi tesooka kukola kunoonyereza n’esiba abantu abatalina musango ku musango ogwa nnaggomola! Tuyambe otaase abantu baffe, abantu baabwe babonaabona, abaana abamu baalekebwa awo ttayo tebaliiko ayamba,” bwe yagambye.

Bano era beemulugunyizza nti wadde beesudde ebbanga okuva ku poliisi okuli ey’e Nama, ey’e Mbalala n’e Mukono, ate poliisi mu kitundu kino yaggalwawo ne basigalira awo ttayo ekyawa ababbi ekyanya okubayisa nga bwe baagala.

RPC wa Kampala Metropolitan East, Joab Wabwire ng’ayogera.

Wabula RPC Joab Wabwire yategeezezza nti baakwata abantu nga bagoberera obutambi obwasasaanyizibwa ku mitimbagano ng’era omuwaabi wa gavumenti ow’emisango ye yabawabula okubeerako be bata ku basibe be baakwata ate 13 bbo n’alagira babongereyo mu kkooti.

Wabula ono abatuuze tebaamulinze na kumaliriza ne bamungoola nga bamulangira okwogera obulimba nga tafunyeemu wadde ensonyi.

Abatuuze bagamba nti ab’amagye be baakwata abantu nga teyali poliisi nga kye kyaleetera n’okukozesa obukambwe obungi nga tebaliiko wadde kye baali bagoberera wabula baamalanga gakwata.

Ng’ayanukula, Gen. Otafiire yasoose kwetondera batuuze okusingira ddala ssentebe Katambala gwe baasinga okukuba n’agamba nti kikyamu okukuba Bannayuganda ne bwe baba bazzizza emisango.

Otafiire yalagidde RPC Wabwire okukwata era avunaane abasirikale abeenyigira mu kukuba abantu n’okubatulugunya.

“Ssiyinza kukkiriza Bannayuganda kubakuba ne bwe baba bazzizza emisango, oli bw’aba azzizza omusango akwatibwe avunaanibwe, naye ate teri akkirizibwa kumukuba, ka kibe ku bakulembeze oba abantu ba bulijjo,” bwe yagambye.

Era yalagidde poliisi ezzibwe e Katoogo nga bongedde ne ku basirikale okuva ku bana be baalina luli baweze abasirikale munaana.

Yalagidde wakolebwe okunoonyereza nga bwe kinazuulibwa ng’abakwatibwa baakwatibwa mu bukyamu bayimbulwe baleme kusibibwa nga tebazza misango.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!