Bya Abu Batuusa
Abaami abaalondebwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II okumukulembererako omuluka gwa Lukwanga okusangibwa mu ssaza ly’e Busiro balayiziddwa okutandika emirimu gy’embuga.
Mumyuka azze mu mitambo gy’omuluka gw’e Lukanga ye Kato Edward ng’alayiziddwa n’abayambi be b’agenda okukola nabo emirimu.
Ssebwana ng’ono y’atwala essaza lya Beene ery’e Busiro, Aloysius Ssemanda ng’ambibwako Mumyuka w’eggombolola ya Wakiso, Achilles Mukiibi.
Wakati ng’omukolo gugenda mu maaso, nnamutikwa w’enkuba abaddemu kibuyaga azze gawanye okukkakkana ng’afuumudde weema abagenyi mwe babadde batudde olwo ekiddiridde kubagwira ne babuna emiwabo, abalala balabiddwako nga badduka ekibambulira ky’enkuba n’abangi okusabira enkuba okukkakkana naye nga buteerere.
Oluvannyuma lw’ekiseera enkuba ekedde ng’era ebisigadde babikoledde mu nnyumba okuli n’okutuuza Mumyuka Kato Edward ng’ow’omuluka gw’e Lukanga ssaako omumyuka we Kasirye Samuel Kiwanuka ng’oluvannyuma bano bakubye ebirayiro.
Wano Ssebwana Aloysius Ssemanda w’sinzidde n’akuutira abatuuziddwa okweyisa nga abawereddwa obwami nga babeera eky’okulabirako eri abantu be bakulembera ssaako okwewala okutuntuza bantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Ssebwana abakataalidde okufuba okunyweza ennono ssaako okutumbula n’okutwala mu maaso ensonga za Buganda zi ssemasonga ettaano omuli; Okunywezza Namulondo, Obumu n’endala.
Abakataalidde okwewala okuwawaagulwa eby’obufuzi ebyawula yawula mu bantu oba oly’awo olw’enjawulo mu bibiina bye bawagira n’ebirala.
Mu balala abayogedde, Mumyuka wa Wakiso Achilles Mukiibi wamu n’atuuziddwa ku bwa Mumyuka w’e Lukwanga ng’ono aweze okutwala mu maaso ensonga ezitwala Nnamulondo mu maaso n’obwakabaka bwa Buganda okutwaliza awamu.