Okuva ku kkono waggulu; Canon Balamaze, Canon Gita, Canon Kayimba ne Rev. Samuel Muwonge.

Bana be Batunuuliddwa Okuddira Bp. Katumba owa West Buganda mu Bigere

1
0 minutes, 45 seconds Read

Bp. Henry Katumba Tamale, omulabirizi wa West Buganda.

Omulabirizi w’omulabirizi bwa West Buganda, Bp. Henry Katumba ayolekedde okuwummula obuweereza olw’emyaka egy’essalira 65 abaweereza ku ddala lye kwe baba balina okuwumnulira.

Okusinziira ku bwino, Bp. Katumba waakuwummula mu March w’omwaka ogujja 2025.

Na bwe kityo, enteekateeka zaatandika dda okulaba ng’abavunaanyizibwa basunsula amannya g’abaweereza ba Katonda abanaddira Bp. Katumba mu bigere.

Abamu ku basongeddwamu olunwe kuliko Rev. Can. Moses Kayimba ng’ono ye muwandiisi w’obulabirizi bwa West Buganda, Rev. Samuel Muwanga nga ye mukwanaganya w’omulimu gw’okubuulira enjiri mu bulabirizi bw’e Namirembe.

Abalala ye Rev. Canon Edward Kironde Balamaze ssaabadinkoni w’obusaabadinkoni bw’e Seeta mu bulabirizi bw’e Mukono ne Rev. Canon John Gita Kavuma, ssaabadinkoni w’obusaabadinkoni bw’Entebbe mu bulabirizi bw’e Namirembe.

 

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!