Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuviira ddala mu kulonda okwaliwo mu mwaka gwa 2021 bazzenga basaba omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni okuyimbula abantu bonna abaasibibwa olw’eby’obufuzi.
Wabula nga bano bakulungudde mu makomera emyaka egisoba mw’esatu nga n’abantu baabwe babonaabonaabona ebitagambika omuli abaana abaava mu masomero nga n’abamu eky’okulya kibeekubya mpi, okusaba kwabwe Pulezidenti Museveni ne gye buli eno akyakusudde mu kasero.
Ne bwe kityo, n’abakulembeze ba disitulikiti y’e Wakiso bagasse eddoboozi lyabwe ku ly’abo abazzenga basaba omukulu nga bagamba nti akozese ekisiibo ky’Abasiraamu kino yeekube mu kifuba ayimbule abasibe abo kuba babonaabonera bwereere tebalina musango gwe bazza ng’ogwabalangibwa gwa byabufuzi ate nga ssemateeka w’eggwanga lino buli Munnayuganda amuwa omukisa okubaako omuntu gw’awagira mu by’obufuzi ng’era okuwagira omuntu oli gw’ayagala bagamba si musango.
Banno okutuuka ku bino baabadde ku kitebe kya disitulikiti we baasiibululidde Abasiraamu okwetoloola disitulikiti nga bakulembeddwamu Super Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Muhammad Galabuzi ng’ekijjulo kya Futaali.
Abakulembeze bano baakulembeddwamu ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika n’omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Wakiso mu palamenti, Betty Ethel Naluyima.
Omubaka Naluyima yasabye Pulezidenti Museveni okukozesa obuyinza bwe yeekuba mu kifuba ayimbule abaana abavundira mu makomera agenjawulo.
Ye Ssentebe Bwanika yagamba nti nga disitulikiti bayita mu kaseera akazibu nga kati n’emisaala gy’abakozi girwawo okubatuukako nga nabo ng’abakulembeze tebakyalina kya kukolera bantu okujjako okwegayirira omutonzi bw’aliba asiimye abaddiremu abasimattuse ekikaliriro kye baliko.
Ate ye Sheikh Yasiri Kulumba nga y’avunanyizibwa ku nsonga z’Obuyisiraamu ku ludda lw’e Kibuli bwe yabadde akulembeddemu okubulirira abaddu ba Allah yennyamidde olw’eby’enfuna by’eggwanga eby’eyongera okugotaana buli olukya ekiviiriddeko abantu okwongera okwekengera bannaabwe.
Wabula Supreme Musfti Galabuzi yeebazizza abakulembeze b’e Wakiso olw’enkolagana ennungi n’Abasiraamu gye bazze balagira mu nsonga ez’enjawulo.
Sheikh Galabuzi yasookedde ku ddwaliro lya Wakiso Health Center IV n’awaayo ebikozesebwa mu bujjanjabi bw’abalwadde.