Bya Abu Batuusa
Omulimu gw’okusonda ensimbi ez’okuzimba ekizimbe ky’ebyobusuubuzi ku kkanisa ya St. Paul Kisimbiri gutandise na maanyi. Omukolo guno gwettaniddwa Abakulisitaayo ababaddewo mu bungi, ng’omulamwa gw’omukolo guno omukulu gubadde gwa kukuza lunaku lw’abavubuka ku kkanisa eno.
Abagenyi omubadde n’ebikonge eby’amaanyi biwaddeyo ensimbi ez’okuwagira omulimu guno nga ppulojekiti ewomeddwamu omutwe abavubuka emanyiddwa nga Ebenezer Project.
Omulimu guno gukubiriziddwa Rev. John Nkuubi ow’obusumba bwa St. Paul Kisimbiri nga wano w’asabidde Abakulisitaayo okuvangayo mu kuyamba emirimu gya Katonda egy’enjawulo. Rev. John Nkuubi , St.Paul Kisimbiri , Ebenezer Project.
“Teri muntu yali ayavuwadde ng’ensonga emwavuwazza kwe kusondanga ensimbi ez’okukulaakulanya emirimu gya Katonda. N’olw’ekyo mikimanye nti ne bbayibuli egamba nti emmeeme egabagaba enaagejjanga, ate ne nnaasiwa mu kange, asiwa mu kaabukuku. N’olw’ekyo kibakakatako okuwagira emirimu gya Katonda egy’enjawulo olwo naye alyoke awagire emirimu gyammwe,” Rev. Nkuubi bbwe yannyonnyodde.
Omugenyi omukulu, ng’ono y’abadde akulira abavubuka, Tefero Lule okuva mu bulabirizzi bw’e Namirembe avumiridde ebikolwa by’abavubuka bye bakola mu kuvuma abantu abakulu n’okulengezza abantu abakulu naddala nga beeyambisa emitimbagano.
“Ekkanisa etulagira okuwa bakulu baffe ekitiibwa. Eby’embi, ensangi zino abantu naddala abavubuka beegumbulidde omuze ogw’okuvuma n’okulengezza abantu. Olaba ne Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, ng’ono buli muntu mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu amussaamu ekitiibwa, eriyo abavubuka ensangi zino ababadde bagufudde omugano okumulengezza, kyannaku nnyo! Nsaba tweddeko, twebuulirire tukyuse empisa,” Lule bwe yategeezezza.
Ate omukubiriza w’ekkanisa eno Florence Mawejje asiimye omulimu ogukoleddwa Abakulisitaayo kubanga okutandikawo pulojekiti ng’eno eya Ebenezer, egenda okulaba nga bazimba ekizimbe ekkanisa mw’egenda okuggyanga ssente, kiyamba okukendeeza akazito akateekebwa ku Bakulisitaayo okuyita mu kubasaba ensimbi eziyimirizaawo emirimu egy’enjawulo.