Bya Abu Batuusa
Abasajja ab’Advent basabidwa okuzuukuka bave mu tulo kubanga abakyala bababyiseeko nga kati be beetise obuvunaanyizibwa bwabwe. Bino bibadde mu bubaka bw’omusumba David Mpande nga y’akulembera abasajja mu Central Uganda Conference mu kusinza okwenjawulo okubaddemu abasajja bokka nga basobye mu 500 okuva mu Kampala Zone ng’era bakungaanidde ku Wakisha Recreation Centre e Wakiso.
Omusumba Mpande abuulidde ku mutwe ogugamba nti “Abasajja bazuukuke” era wakati mu kubuulira, asabye abasajja mu kanisa ya SDA okuzukuka bave mu kufuluuta nga n’abakazi babayitako dda ssaako okubatwala obuvunaanyizibwa bwabwe.
Mpande ategeezezza nti ekimu ku biraga nti abasajja ebigenda mu maaso mu ggwanga okuli ne mu kkanisa baabivaako bali mu tulo, nga mu makanisa osangayo abasajja babale okugeza ku bakazi abajjumbira buli kimu.
Bwe twogeddeko n’abamu ku bakuliddemu omulimu guno, Omusumba Kato Damyano Bbaale ng’ono ye musumba w’e Makerere SDA Church ategezezza nga bwe baasazeewo okuyita olukungana olw’abasajja bokka okusobola okubatekerateekera obubaka obw’enjawulo obubayigiriza n’okubajjukiza obuvunaanyizibwa bwabwe.
“Abasajja tulina kubeera mutwe sso si mikira, Bbayibuli bw’etyo bw’erambika, kitukakatako ng’abakulembeze okujjukiza basajja bannaffe omulamwa ogwo era gwe mulimu gwe tubaddeko olwaleero,” Damyano bw’alambise.
Agasseeko nti kisaanidde abasajja yonna gye bali okulokoka battukize okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ng’ekyo bwe kinaakolebwa ebintu bingi mu ggwanga byakukyuka.
Mpandwe era yennyamidde olw’embeera y’obumenyi bw’amateeka obweyongedde ennyo ensangi zino, abasajja be basinga okubwenyigiramu. Agamba nti kino kyeyolekera ku muwendo gw’abasibe mu makomero ng’era gusingamu bavubuka ab’obulenzi n’abasajja abakuze mu myaka.
Ate Omukadde Prof. Moses Lukwago ng’ono yakulembera ekitongole ky’abasajja Kampala Zone ategezezza nga ekibakunganyizza ng’abasajja kwe kwezuula kuba abasajja bagenze wala mu kwononeka nga be bavaayo ne batandika okwogera ebigambo ebivvoola abakulembezze ssaako n’okwogera ebigambo ebitaliimu nsa.
Prof. Lukwago wano w’asinzidde n’asaba abasajja okwejjamu emize ng’egyo baleker’awo okweweebuula nga kye bavudde bakungaana okulaba nga basomesebwa mu ngeri yonna naddala mu nzirukanya y’amaka gaabwe kubanga abasinga tebakyawerera baana n’okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe.