Emmotoka nga lisitaana okuyita ku kasozi kano e Kirongo mu bizinga by'e Buvuma.

Abasuubuzi N’abatuuze e Buvuma Balaajanye ku Kkubo Eriva ku Kidyeri e Kirongo

2 minutes, 24 seconds Read

Ng’enkuba yaakatandika okutonnya mu bizinga by’e Buvuma, amakubo gaatandise dda okukaabya abaayo akayirigombe. Erimu ku gafuuse ekizibu, lye liva ku mwalo e Kirongo mu ggombolola y’e Busamuzi ewagoba ekidyeri ekisaabaza abantu okuva ku lukalu e Kiyindi mu disitulikiti y’e Buikwe nga lino liyitamu okugenda e Kasaali mu ggombolola y’e Nairambi nga lye limu ku matono UNRA g’evunaanyizibwako e Buvuma.

Abasuubuzi bagamba nti ku kkubo lino e Kirongo, lirina akasozi akeesimba obw’entoogo ng’ate kaliko amayinja nga kano kasusse okubakuba ebigwo n’okutta ebidduka byabwe nga bwe gutuuka ku biba bitisse nga biva oba nga bigenda ku kidyeri gujabagira!

Abasaabaliza eby’amaguzi ku pikipiki nga basindika omu ku bannaabwe asobole okuyita ku kasozi e Kirongo akabafuukidde akattiro.

Richard Golooba omuvuzi w’emmotoka ennene esomba eby’amaguzi yategeezezza Kyaggwe TV nti emmotoka naddala enneetissi z’eby’amaguzi, bodaboda eziba zitisse abantu bye bimu ku bisinga okukaluubirirwa bwe bituuka mu kifo kino.

Golooba agamba nti ate bwe gutuuka mu budde ng’oli akeereye ekidyeri kimuleka, kiyitirira kuba ekifo kino embeera gye kibeeramu ng’enkuba etonnye kisukka okuseerera ng’ebidduka bibeera mu kubendabenda nga tebigenda ng’ebimu biremererwa oluusi ne bisula mu kifo kino oba oli bw’aba yakedde ng’alina kulinda omusana okusooka okwaka ekifo ne kikamukamu olwo n’alyoka alowooza ku by’okutambula.

“Bbizinensi zaffe zifa, kati ffe ab’ebidduka, bw’oba oli mwategeereganye nti oli waakukolera omulimu olunaku lumu, bw’otuuka wano n’oseerera ekidyeri ne kikuleka oluusi n’oba ng’olina okusula mu bizinga, olwo emirimu gyaffe giba gifa. Twekubidde omulanga eri abakulembeze ku disitulikiti naye nabo batujuliza ba UNRA ate abo ffe tetubamanyi,” bwe yannyonnyodde.

We twatuukidde mu kifo kino ng’enkuba eyatonnye mu kiro ekkubo yalirese liseerera era ezimu ku mmotoka zaarabiddwako nga ziraajanira ku kasozi okukambuka nga buteerere.

Joseph Okoloyi omuvuzi wa bodaboda yategeezezza nti zzo bodaboda ezitisse eby’amaguzi, zirina kufuna bazisindikako okusobola okuyita ku kasozi kano oba bwe baba bantu baba balina okuvaako ate ne batambuza bigere bwe basomoka ne balyoka baddamu okutuula ne babongerayo.

Bwe twatuukiridde atwala abakozi ba gavumenti e Buvuma, CAO Isa Mbooge yategeezezza nti olw’obutaba na ngeri yonna gye basindiikirizaamu ba UNRA kukola luguudo luno ate nga ddwo ddala lubadde lufuuse akattiro, baakwataganye ne yinvesita akola ogw’okulima ebinazi owa BIDCO e buvuma ne basalawo okulima ekitundu ekirala mu ngeri ya “bypass” nga kiwezaako kkiro mmita nga bbiri ng’eno abantu gye bagenda okugira nga bayita beesonyiwe akasozi kano okutuusa nga UNRA emaze okukakola.

Eby’embi, abasuubuzi baategeezezza nti omulimu guno ogw’okukola ekkubo eriyinza okubawonya ku kasozi kano gututte ebbanga naye tegunnaggyibwako ngalo ne basaba n’aba UNRA bwe kiba kisoboka basitukiremu babadduukirire.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!