Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambudde ekifo ewategekeddwa Enkuuka ya CBS mu Lubiri e Mengo okulaba butya abategesi bwe bateekeddeteekedde abantu be.
Kitegeerekese nga guno gubadde mulundi gwakubiri mu ssaabbiiti eno ng’Empologoma yeetegereza ekifo kino nga yasooka kulabikako ku Lwakuna.
Enkuuka yaakubeera mu Lubiri e Mengo enkya nga December 31, 2023. Mu Nkuuka, Abazira ba CBS gye babbinkanira okufunako Omuzira mu Bazira Kabaka gw’akwasa ebirabo eby’enjawulo omuli ng’ekyapa ky’ettaka.
Nnantawetwa, Nnantakubirwassimu era asinziira mu Nkuuka n’aggalawo omwaka omukadde olwo n’ayingiza abantu be mu mwaka omupya. Abayimbi ab’enjawulo kubi bonna ab’enkizo mu Uganda, bakazannyirizi, era baakusanyusa abantu ba Nnamunswa.
Enkuuta eteekatebwateekebwa buli mwaka Abbey Musinguzi amanyiddwa ennyo nga Abtex.
Awangaale Maasomoogi. #EnkuukaTobongoota