Obwakabaka bwa Buganda baguddemu encukwe, Omukulu w’ekika ky’endiga, Lwomwa Daniel Bbosa bw’akubiddwa amasasi agamuttiddewo.
Lwomwa kitegeerekese ng’abazigu abatannategeerekeka amasasi bagamukunidde Lungujja, okumpi n’awaka we.
Ono amasasi bagamukubidde mu mmotoka ye nga n’okutuusa essaawa eno Poliisi tennavaayo na kikwata ku ttemu lino.
Ebisingawo ku mboozi eno Kyaggwe TV yakubikutusaako.