Bya Tony Evans Ngabo
Abatuuze ba Kireka D, Kasokoso, Kiganda ne Acholi Quarters ebisangibwa mu Namugongo Division mu munisipaali y’e Kira beegugunze ne beekalakaasa ekiddiridde kukuma muliro mu makubo ne bookya ebipiira ssaako okukanyuga amayinja nga balwanagana n’abasirikale ba poliisi wamu n’amagye ga UPDF abazze okubasengula ku ttaka poliisi ly’egamba nti lya Barracks.
Bano beesudde ebitundutundu eby’enjawulo n’emiggo wamu n’amayinja nga bwe bagenda bakuma omuliro nga beekalakaasa era nga bawera nga bwe batagenda kuvaawo oba kufa baakufiira mu kifo kino.
Embeera eno eviiriddeko bbizinensi mu kifo kino okusannyalala okumala essaawa eziweredde ddala ng’abatitiizi beggalidde mu mayumba wabula ng’olwa ttiyaggaasi abadde anyooka okukirako abakumye enkoomi, bano ate abakukunuddeyo mu mayumba nga bafeesa n’okubuna emiwabo.
Mu bamu ku bakoseddwa ttiyaggaasi be baana abato ssaako abamu ku bantu abakuliridde ku myaka abalabise ng’embeera ebaafundiridde wadde ng’abakuuma ddembe babadde bakaawu kukirako nnumba enkubemu ejjinja nga tebaagala kumanya!
mbeera embi gye bayitamu ate abasirikale n’ab’amagye ne bagattako okubagobaganya mu bifo mwe babadde bawangaalira n’okulerera abaana.
Abamu ku bakulembeze mu kitundu kino nga bakulembeddwamu kkansala abakiikirira ku munisipaali David Ssekiziyivu Muya agambye nti kino kibbattaka kyennyini ky’ategeezezza nti sibeetegefu kukkiriza kugobaganyizibwa baabyakwerinda abatonzeewo embeera y’obutali butebenkevu wadde ng’ate be bavunaanyizibwa ku kubakuuma n’okutebenkeza eby’okwerinda.
“Kyannaku nnyo okulaba nga poliisi evunaanyizibwa ku kukuuma emirembe, n’ab’amagye aba UPDF, abavunaanyizibwa ku kutebenkeza emirembe ku nsalo za Uganda n’amawanga amalala ate kati bali wano batulugunya bantu na kubagobaganya ku bibanja byabwe. UPDF eremeddwa okukuuma obutebenkevu ku nsalo e Kaseese n’ereka abayeekera ne bayingira kyere nga bwe batta abantu baffe omuli n’abalambuzi ekisiize ensi yaffe enziro nga bali eno balwanira ttaka lya bantu, ekyo kikyamu nnyo era tetugenda kukikkiriza,” Ssekiziyivu bw’annyonnyodde.
Ne we tuviiridde mu kifo kino, ng’embeera ekyali ya bunkenke nnyo ng’abatuuze bakyawera okufaafaagana n’omuntu yenna anabatambaala ku ttaka kwe babadde batudde entende emyaka n’ebisiibo, waakiri bonna okubatta bagwewo!