RDC Lydia Kalemeera ng'ayogera n'abayizi ku ssomero lya Victoria High School e Lugazi nga tebannaliggala.

RDC Aggadde Essomero Eribadde Lisiibya Abayizi B’ekisulo Enjala

2 minutes, 38 seconds Read

Ab’eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Buikwe nga bakulembeddwa amyuka RDC w’e Buikwe Lydia Kalemeera ne DPC w’e Lugazi John Lukooto banunudde abayizi ababadde balinga abali mu buwambe ku ssomero ng’abalikulira babasiibya njala nga n’abasomesa ku ssomero tewali.

Essomero lya Victoria High School erisangibwa mu kibuga Lugazi lye liggaddwa n’abayizi omwenda abasangiddwayo ne batwalibwa ku poliisi okulelerwa enteekateeka ezibazza ewaabwe.

Kiddiridde ab’eby’okwerinda okutemezebwako ng’abakulira essomero lino bwe bakuumira abayizi ku ssomero nga n’eky’okubaliisa tebakirina nga n’ennaku ezimu babadde basiibanga enjala n’okugisula ate ezisigadde nga balya omulundi gumu.

Bano olutuuse ku ssomero abayizi ne batandika okubasindira ennaku nga bagamba nti bamaze ennaku nga tebalya sso nga n’okusoma bamaze ebbanga nga tebalaba ku basomesa nga n’alikulira aliira ku nsiko.

Kizuuliddwa nga ku bayizi bano omwenda, bana basoma S.1, babiri bali mu S.2, babiri be basoma S.3 sso ng’ate S.4 erimu omuyizi omu yekka.

Essomero lya Victory High School lisangibwa wakati mu kibuga Lugazi emabega wa kkampuni ekola waya z’amasannyalaze eya Cable.

Abayizi bannyonnyodde nti abakulira essomero baabasolooza okuva mu bitundu eby’enjawulo omuli Kampala, Kawempe, Arua ne Nakazadde ekisangibwa mu kibuga Lugazi nga bbo ne bazadde baabwe babasuubizza nga bwe bagenda okusomera mu ssomero ery’ebirooto byabwe.

“Baatugamba twanguwe okutuuka ku ssomero mangu kuba nti bayizi bannaffe baali baatandika dda okusoma. Baatugamba nti baali batuwadde bbasale nga ku mitwalo 80 egy’ensimbi za ‘school fees’ nti ffe baali batuwadde bbasale nga tugenda kusasulako kitundu emitwalo 40 zokka,” omu ku bayizi bwe yannyonnyodde.

Ono yagasseeko nti wabula kyabaggwako bwe baatuuka ku ssomero nga bye baabagamba si bye biriyo. Mbu n’ekyasinga okubamalako eby’ewungula kwe kubasiibyanga enjala ng’eky’okulya bawamma kiwamme, ng’ennaku ezimu basiiba ne basula sso nga lwe baba bafunye eky’okulya balya ekibu kimu nga beebaka.

Bano bagamba nti okusooka baasangawo abasomesa musanvu ne bagenda nga beesala okutuuka lwe baasigazizza omusomesa omu ate nga naye atandise okubategeeza nga bw’ayinza obutadda.

“Tubadde tusula wansi wadde nga mu kuva ewaka baatupapya nga batugambye nti tusaanye okwanguwa twekwate ebitanda nga tebinnaggwawo,” omu ku bayizi bwe yagambye.

Amyuka RDC Kalemeera yalagidde essomero liggalwe abayizi ne babatikka n’ebintu byabwe ne babavuga ne babatwala ku poliisi e Lugazi okubagulira emmere olw’enjala ebadde ebula okubakuulamu ennimi n’okukola enteekateeka eyita bazadde baabwe babatwale.

Wabula bano baabadde tebannasimbula kuva ku ssomero lino ate ne zireeta Sunday Giga agambibwa okuba nnanyini bizimbe aba Victory bye bapangisa n’ategeeza abakulu nga bwe yayagala edda bano okumuviira nti kyokka tabalaba n’asiima eky’okuggala essomero.

Giga ategeezezza nti abaddukanya essomero lino ababanja ensimbi ez’obupangisa eziri mu bukadde obuwerera ddala kyokka nti gwe yalipangisa abadde yadduka ng’amaze ebbanga nga tamulabako.

RDC alabudde amasomero agaddukanyizibwa mu ngeri efaananko bweti okweddako gakyuseemu nga bukyali nga bwe kigaana gagenda kuggalwa ne bannanyinigo bavunaanibwe.

“N’abazadde mbalabula okumala gawaayo baana bammwe mu buli ssomero eribabasaba ate ne mutatwala na budde kubalambulako okumanya embeera mwe bali,” bwe yategeezezza.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!