Ng’Abaganda bwe baagera nti “Omumpi w’akoma w’akwata”, oluvannyuma lw’okutuuyana n’ebibuuzo, essomero omuzi anywedde mu banne akendo limuwadde kamyu ne bamukuutira atandike okulunda naddala mu kiseera kino nga bagenda mu luwummula oluwanvu.
Abayizi babbinkanye mu mpaka z’olulimi Oluganda mwe bababuulizza ebibuuzo eby’enjawulo ebikwata ku buwangwa n’ebyafaayo bya Buganda ssaako kalonda akwata ku bukulembeze bwa era n’ebyafaayo bya Uganda.
Abayizi 12 be beetabye mu mpaka zino ezitegekeddwa essomero lya Bright Junior Academy erisangibwa mu Nakifuma-Naggalama TC mu disitulikiti y’e Mukono. Eky’enjawulo mu mpaka zino, buli muyizi azeetabyemu abadde awerekerwako muzaddewe nga n’omuzadde aliko ekibuuzo ekimubuuzibwa. Omugatte omuyizi abadde abuuzibwa ebibuuzo mukaaga naye ng’ekimu kibiizibwa muzadde.
Abeetabye mu mpaka zino mulimu; Isaac Mawanda, Juma Ssempogo, Gloria Mutonyi, Shifra Nassali, Shadia Namugga, Catherine Nakangu, Annet Nabacwa, Elijah Kabonge, Ashim Kalyango, Shafik Ssentongo, Fahad Nyanzi ne Anitah Nalutaaya.
Abayizi bayolesezza obumanyi mu kuddamu ebibuuzo omuli ebyo ebikwata ku bwakabaka bwa Buganda n’ebyo ebikwata ku byafaayo bya Uganda.
Abamu ku bazadde ebibuuzo babadde babitegeera sso ng’ate abalala babadde batuusa mukolo ng’ebigenda mu maaso tebabitegeera. Empaka ezifaanana zino zizze zibeerawo ku leediyo okuli ey’obujjajja, Radio CBS 88.8 ezimanyiddwaa ng’Entanda ya buganda ne Radio Simba nga ziyitibwa Engule ya Radio Simba.
Wadde ng’abawangula empaka zaa CBS ne Radio Simba baweebwaa ebirabo ebyamaanyi omuli n’abaweebwa ebyapa by’ettaka, emmotoka ku ssomero lino si bwe kibadde.
Ng’Abaganda bwe baagera nti “Omumpi w’akoma w’akwata”, oluvannyuma lw’okutuuyana n’ebibuuzo, essomero omuzi anywedde mu banne akendo limuwadde akamyu ne bamukuutira atandike okulunda naddala mu kiseera kino nga bagenda mu luwummula oluwanvu. Bamugattiddeko n’ebirabo ebirala. Kinajjukirwa nti mu zimu ku bbizinensi ezirimu ensimbi abantu ze bettanira ensangi zino mwe muli n’okulunda obumyu.
Shifra Nassali y’awangudde banne n’obubonero 31 n’addirirwa Ashim Kalyango n’obugoba 30 ne Elijah Kabonge afunye 24. Nalutaaya mu ky’okuna afunye obubonero 17, Nakangu 16, Ssempogo 16, Nabacwa 16, Mawanda 14 n’abalala.
Ku mpaka zino, abayizi era baayolesezza ebitone omuli okuyimba, okuzannya n’amazina ssaako abayizi abava mu nnassale abaasuumusiddwa okugenda mu ppulayimale mu P.1.
Omugenyi omukulu Ssalongo Wilson Ssebalamu nga ye ddayirekita w’essomero lya Kirinya High School e Bweyogerere asiimye Nassali olw’okwolesa obumanyi si mu bisomesebwa byokka wabula ne kalonda akwata ku Buganda ne Uganda ye ne banne bye boolesezza mu kuddamu ebibuuzo.
Ssebalamu asiimye n’essomero olw’okufissaawo obudde ne batakola ng’abalala wabula ne bayigiriza abayizi ekitatera kukolebwa eky’okubayigiriza ebikwata ku nnono y’obwakabaka bwa Buganda n’ebyaafaayo ebikwata ku Uganda.
“Olulimi Oluganda kyabugagga era oluliisa ensi n’ensi ate nga kati lwongedde okwegiriisa mu nsi yonna nga n’amasimu ge tukwata mu nkola emanyiddwa nga google bw’oluwandiika lutegeerekeka. N’olw’ekyo, omuyizi aluteekako essira okulutegeera okugenda e buziba k’aba agoba kaba kaliibwa. Nyogera kubazzaamu maanyi era temuggyamu manda,” bwe yategeezezza.
Ono omuyizi Nassali amuviiridde mu mutwalo gw’ensimbi n’amusiima olw’okwolesa obumanyi. Asuubizza abazadde nti mu bayizi ab’ekibiina eky’omusanvu (P.7), anaasinga banne ng’ayitidde mu ddaala erisooka amuwadde ekifo mu ssomero lye nga waakusomera bwereere.
Ssebalamu era akwasizza abayizi aba Top Class abasuumusiddwa okugenda mu P.1 omwaka ogujja amabaluwa nga bano babadde bawerekerwaaaako baazadde baabwe.
Omukulu w’essomero, Francis Okumu aliko abayizi be yasiimye n’abawa ebirabo omuli asinze banne okussaayo omwoyo mu bisomesebwa ng’azze aakulembera mu kibiina kye omwaka gwonna, asinze okukwata obudde, asinze obuyonjo, ow’empisa, n’abalala.