Ssekiboobo Boogere N’abamyukabe Balagiddwa Okuwaayo Woofiisi ku Mmande

2 minutes, 23 seconds Read

Abadde omwami wa Kabaka ow’essaza ly’e Kyaggwe, Elijah Boogere Lubanga Mulembya oluvannyuma lwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II okusiima n’amuwummuza ku bukulu obwo, alagiddwa okweteekateeka aweeyo woofiisi eri Ssekiboobo omuggya, Vincent Matovu.

Wadde ng’ebbaluwa eragira abadde Ssekiboobo okwetegeka n’abamyukabe okuli asooka Kato Matovu n’ow’okubiri Kanakulya Luswata teriiko nnaku za mwezi ddi lwe yawandiikiddwa ng’eno era yayisiddwa ku mikutu gi mugatta bantu yateekeddwako omukono omukubiriza w’olukiiko lw’essaza ly’e Kyaggwe, Naggujja Esther Kakooza.

Ensonga enkulu eyawandiisizza ebbaluwa eno ya kuwaayo woofiisi n’ebigenderako, era ng’ewandiikiddwa eri Abaweereza ba Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Kyaggwe, sso si Ssekiboobo awummudde Elijah Boogere n’abamyukabe butereevu! Mu nogera ennyangu tugambe nti ya lukale!

Bano bategeezebwa nti ku lunaku lwa Mmande ssaawa kkumi ez’olw’eggulo, wajja kubaawo okuwaayo woofiisi ku mbuga y’essaza. Nti abamyuka ba Ssekiboobo abaawummudde nabo baakuwaayo alipoota zaabwe.

Wabula ebbaluwa eno erambulula nti enteekateeka y’essaza ey’enjawulo mwe lirisiimira emirimu egikoleddwa Ssekiboobo awummudde eggya kugoberera luvannyuma mu maaso eyo nga babeeza ebirungi bye bakoledde essaza lino nObwakabaka bwa Buganda okutwalira awamu.

Mu bulambulukufu ebbaluwa eno egenda bw’eti;

Eri: Abaweereza ba Ssabasajja Kabaka Ssaza kyaggwe 

Eso: OKUWAYO WOOFFISI NEBIGENDERAKO. 

Twebazza Oweekitibwa Bogere Elijah Ssekiboobo awumudde na Bamyuka be Oweek. Matovu Kato ne Oweek Kanakulya Luswata olwobuwereza bwonna. Tusiimye nnyo tusimidde ddala. 

Tubategeeza nti Kulunakku Iwa Mande nga 22/04/2024 Essawa 10:00 Ez’olweggulo, wajjakubawo okuwayo wooffisi kumbuga ye Ssaza. Abamyuka b’Essaza abawumudde nabo bajja kuwayo alipoota zabwe. Naye tujja kubategeeza enteekateeka eye Ssaza eyenjawulo mwetugenda okwebaliza Oweek Bogere Elijah okuwereza ne mirimu byebabakoledde Essaza nabamyukaka okuva Ssabassajja Iweyasiima. 

Mungeri eyenjawulo tuyozayoza Oweek Matovu Vincent Ssekiboobo Omuggya n’abamyuka be, Oweek Moses Ssenyonjo n’ Omwami Moses Katende, Ssabasajja Kabaka okusiima nabatuwa. 

Tubagaliza obuwereza obulungi 

Mbajukiza nti Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Ssabalabirizi Samuel Kazimba Mugalu n’e Ssekiboobo Matovu Vicent baatuyita ku Ssande 21/04/2024 ffenna tuli ku Bishop Senior Mukono nga batongoza kawefube w’okunonya obuwujjirizi buwa Timu ye Ssaza ku sawa 4:00. 

Ayi Katonda Kuuma Ssabasajja Kabaka 

Naggujja Esther Kakooza Omukubiriza w’Olukiiko

Wabula, abamu ku Bannakyaggwe balaze obutali bumativu olw’engeri enteekateeka eno gy’ekwatiddwamu nga bagamba nti Ssekiboobo yandibadde ayitibwa mu butongole mu ngeri emuwa ekitiibwa ng’abadde omuweereza wa Kabaka sso si kumulengezza n’abamyukabe wadde awummudde.

Bano bagamba nti ebbaluwa eyita Ssekiboobo n’abamyukabe teri nsonga lwaki ate mu kifo ky’okugiwa ye ng’omuntu ate baagitadde ku mutimbagano nga balinga abatamanyi bimukwatako okuli n’okuba n’ennamba ze ez’amasimu oba nga tebamanyi na wa gye bayinza kumusanza bbaluwa eno.

Ronald Mukasa omutuuze mu ggombolola ya Mituba IV Kauga agambye nti Ssekiboobo n’abamyukabe bandibadde babawandiikira ebbaluwa entongole olwo ate n’abantu abalala be beetaaga okubeerawo nabo ne babawandiikira ebbaluwa ey’olukale ng’eno gye banditadde ku mitimbagano.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!