Bya Tony Evans Ngabo
Abakulembeze abali ku mutendera ogw’eby’obufuzi mu disitulikiti y’e Wakiso si basanyufu olw’engeri amasomero gye galinnyisizzaamu ebisale n’ebulayo wadde omukulu mu minisitule y’eby’enjigiriza oba mu gavumenti avaayo okukuba ku nsolobotto ab’amasomero abagufudde omugano okukanda abazadde ensimbi nga balinga ze baabateresa.
Bano nga bakulembeddwamu omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima, ssentebe wa disitulikiti, Dr. Matia Lwanga Bwanika n’abalala bagamba nti okutuusa nga gavumenti evuddeyo n’erungamya bulungi amasomero naddala ag’obwanannyini ku nsonga y’ebisale by’amasomero ebirinya buli lusoma ewatali wadde okuwa ensonga ennambulukufu eri abazadde lwaki kino kikolebwa, nti abazadde bangi boolekedde okulemererwa okuweerera abaana baabwe.
Omubaka Naluyima asinzidde ku kitebe kya disitulikiti e Wakiso mu nteekateeka ya NAFFE TUSOME gye yatandika n’ekigendererwa eky’okuyambako abaana mu Wakiso naddala abawala obutazaala nga tebanneetuuka n’agamba nti kyababuuseeko nga abakulu mu minisitule y’eby’enjiriza nabo tebalina kya kunyonyola palamenti ku nsonga eno kyokka ng’ate Bannayuganda bakaaba buli lukya.
Ono yasabye minisitule y’eby’enjiriza okuvaayo n’ekiragiro ekikoma ku masomero obutamala gadumuula bisale.
Omubaka Naluyima era yalaze obwenyamivu olw’omuwendo gw’abaana abalenzi nabo abeeyongedde okuwanduka mu masomero nga n’ekibaviiirako tekinnaba kutegeerekeka wabula ng’ate era n’abawala abafunira embuto mu masomero nabo beeyongera bweyongezi.
Omubaka era asabye abazadde okukomya okwegobako abaana abafuna embuto nga bakyasoma mu bufumbo wabula babawe omukisa omulala ogw’okumala okuzaala baddeyo basome nga bangi abakoze bwe bati abaana baabwe ne baddamu ne basoma era ne bavaamu abantu ab’omugaso.
Ssentebe wa disitulikiti y’e ye Wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika ye agugumbudde abakulu b’amassomero abayitirizza akajanja k’okuyigiriza abaana oluzungu lwokka ne babakubira ate ennimi zaabwe ezaaliranwa .
Mu mbeera y’emu Nakabugo Janat nga y’amyuka akulira eby’enjigiriza mu disitulikiti agamba nti mu kadde kano amasomero ga gavumenti agamu gakyasomoozebwa olw’abasomesa abawereddwa ‘transfer’ nga mu kiseera kino bangi ku bbo tebanagenda gye baagabiddwa.
Abakulembeze bano nga nabo olwaleero basiibye bambadde yunifoomu za ssomero okulaga abayizi nti nabo baayitirayo basookedde ku ssomero lya Alliance High school e Nansana nga era omubaka Naluyima abayizi abagabidde ebikozesebwa ku ssomero omuli ebitabo, ppeeni, sseeti, n’ebirala.