Bataano Ababadde Bava ku Kabaga mu Ssabo Bagudde mu Nnyanja ne Bafa

1 minute, 35 seconds Read

Abantu bataano ababadde basaabalira mu lyato ku nnyanja Nalubaale mu bizinga by’e Buvuma nga bava ku kabaga ak’okwekulisa okuyita mu mwaka n’okwewonga olw’omwaka omupya bagudde mu nnyanja ne bafa.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa, Hellen Butoto, 14 kw’abo bannyuluddwa mu nnyanja ne baddusibwa mu ddwaliro ly’e Bugaya gye bali mu kufuna obujjanjabi sso ng’eriyo n’abalala abatamanyiddwa muwendo abatalabikako.

Butoto agamba nti ekikangabwa kino kyaguddewo ku Mmande ssaawa emu ey’akawungeezi, bano eryato lye baabadde batambuliraamu bwe lyeyabuluzzaamu bibiri ne babbira mu nnyanja.

Ssentebe w’eggombolola y’e Bugaya mu disitulikiti y’e Buvuma, Jodolo Sserwanja akakasizza nti abatuuze bano okugwa mu nnyanja baabadde bava ku musamize ku kazinga akamanyiddwa nga Zigunga nga bagenda ku kizinga ky’e Zinga.

Sserwanja agambye nti bano olunaku lw’Olusooka baalumaze mu mbuga ew’omusamize ku kabaga akatandika omwaka ng’ono ku buli ntandikwa ya mwaka akola akabaga kano, abantu n’abawa ne balya n’okunywa ne banywa.

Kigambibwa nti akaato bano mwe baabadde basaabalira kaabadde mu mbeeraa nga si nnungi nga kw’ogatta omuyaga ogwabadde ku nnyanja n’okuba ng’ate aabamu ku baabadde mu lyato baabadde bagangayidde oluvannyuma lw’okusiiba nga beekeserera obugonja.

Butoto agamba nti abaafudde kuliko; Monday Bukenya (50), Sisa Nantaba (7), Lydia Nagita (16), Night Ssabano (9) ne Angel Namuwaya (10).

Bbo abaasimattuse akaabenje kano 14 Butoto era awadde amannya gaabwe okuli;  Annet Bandibasa (35), Florence Nakintu (45), Samali Nalubega (3), Olivia Nalunga (6), Joseph Bukenya (50), Joseph Omodingi (15)  ne Cynthia Kaguna (9).

Abalala kuliko; David Mukasa (54), Kutusa Namatovu (40), Juma Kangungulu (13), Shaluwa Nishima (9), Precious Naziwa (6), Isa Yoweri (2) n’omwana ow’emyezi omukaaga  Dan Sseluyembe.

Butoto agasseeko nti eby’embi kwe kuba nti omuwendo gw’abantu abakyabuze tegumanyiddwa nga poliisi ya Marine ekola butaweera okulaba ng’enoonya abo abayinza okuba nga bafiiridde mu njega eno ng’emirambo gyabwe gikyabuze.

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!