RDC Shafic Ali Nsubuga ng'ayogera.

Bbomu mu Kampala n’e Wakiso: Ab’amabaala bateereddwako obukwakkulizo

1 minute, 33 seconds Read

Bya Tonny Evans Ngabo

Ng’embeera eyongera okubeera ey’obunkenke mu kibuga Kampala n’ebitundu ebimu mu disitulikiti y’e Wakiso olw’eby’okwerinda ebitabuse mu kiseeraa ng’eggwanga lyolekedde ennaku enkulu, amabaala n’ebifo ebisaanyukirwamu biteereddwako obukwakkulizo obukakali.

Embeera eno eddiridde bbomu ebbiri ezaatulikidde mu bifo eby’enjawulo e Kikubamutwe mu Kabalagala n’e Nabweru mu munisipaali y’e Nansana ku Lwomukaaga.

Omubaka wa Pulezidenti atuula e Nansana (RDC) Shafic Ali Nsubuga alangiridde ebiragiro ebikakali ab’amabaala n’ebifo ebisanyukirwamu bye balina okugoberera mu kiseera kino ng’anaagaana okubigoberera waakuggalwawo.

RDC Nsubuga anokoddeyo eky’okubeera n’obuuma obukebera bbomu eri buli ayingira mu bifo omuli ebbaala, wooteeri, zi loogi n’ebirala.

“Teri muntu alina kuyingira mu bifo ebyo na mmundu, ssinga tunabaako gwe tusaangayo n’emmundu k’abe nga musirikale waffe akkiriziddwa okubeera n’emmundu, ow’ekifo ekyo ajja kuba avunaanibwa. Ate ssinga wabaawo ekifo omunabeera ebikolwa eby’obutujju nga bbomu okwabikirayo oba okusangibwaayo emmundu, nnannyini kifo ekyo naye aggya kuba aggulwako gwa butujju,” bw’alambuludde.

RDC Nsubuga mu kwogerako n’omusasi waffe era alabudde n’abakuuma ddembe bonna abakaalakaala n’emmundu zaabwe mu mabaala nga bagenze okunywamu ku kabissi , nti yenna anakwatibwa kaakumujjuutuka bwatyo n’asaba ne bannansi buli omu okubeera mbega wa munne okulaba nga baayambako mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka okuli n’obutujju obwagala okutabangula emirembe mu kiseera kino eky’ennaku enkulu.

Ono era asabye Bannayuganda abasobola mu kiseera kino ng’obutujju bugenda mu maaso okutandika okunywera  omwenge  mu maka gaabwe ng’agamba nti obulamu kye kisinga obukulu okusinga okwagala okwesanyusa okw’obw’olumu ate nga bagenda kufa.

“Obulamu bwakusigalawo oba Kulisimaasi w’eri oba ewedde, tekiyamba kufiira mu bbaala ng’abatujju bateze bbomu. Nsaba tufeeyo ku by’okwerinda byaffe ng’abantu okusinga okulowooza nti eriyo anaabakuuma nga mmwe temwefuddeeko,” Nsubuga bw’ategeezezza.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!