Nnaabagereka Akunze Abakyala Okwenyigira mu Bifo By’obukulembeze

Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abakyala okwenyigira mu bifo by’obukulembeze beeyongere okuganyula nnyaffe Buganda ne Uganda yonna okutwalira ewamu. Nnaabagereka obubaka buno abuweeredde ku Golf Course Hotel mu Kampala, mu lukungaana lw’Abakyala abeegattira mu bibiina eby’enjawulo ebirwanirira eddembe ly’Omukyala “Annual Buganda Women Human Rights Defender’s conference” wansi w’omulamwa; “Ssiga mu Mukyala, okulaakulane”, n’ategeeza nti abakyala balina […]

Katikkiro Mayiga Ayanjuliddwa Omutaka W’Ekika Ky’Emmamba Omuggya

Bazzukulu ba Gabunga ab’eddira Emmamba bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’okufuna omutaka obbulukuse, ng’adda mu bigere by’omutaka omubuze, Mubiru Zziikwa. Omutaka Ali Mubiru Zziikwa, Gabunga Omubbulukuse, nga y’azze mu bigere bya kitaawe, Gabunga Omubuze ayanjuliddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo olwaleero nga November 25, 2024. Busiro North MP Nsubuga Loses […]

Kitalo! Gabunga Omukulu W’ekika Ky’Emmamba Afudde!!!

Obuganda buguddemu ekikangwabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’omukulu w’ekika ky’Emmamba, Gabunga Mubiru Ziikwa owa 37. Okusinziira ku nsonda enneekusifu, Gabunga yafiiridde mu ddwaliro e Lubaga mu kiro ekikeesezza ku Ssande ku ssaawa nnya. N’okutuusa essaawa eno, omubiri gw’omugenzi gukyali mu ggwanika ly’eddwaliro lino ng’abakulu mu kika bwe bakwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda okulaba enteekateeka z’okutereka omubiri […]

Katikkiro Asaasidde Abavubuka Abalumiziddwa Kibuyaga Bw’agoyezza Ttenti mu Lubiri

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asiisidde abavubuka abalumiziddwa kibuyaga atategeerekese gy’avudde bw’abalumbye mu Lubiri lwa Kabaka gye babadde nga bajaguza n’okukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda. Kigambibwa nti kibuyaga ono agoyezza ttenti abantu ab’enjawulo ne balumizibwa era ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo ng’embeera yaabwe si nnungi. Okusinziira ku babaddeyo, embeera eno ebaddewo ng’emikolo ginaatera okutuuka […]

Ssekiboobo Akubye Abazadde, Abayizi N’abasomesa Ba St. Balikuddembe S.S Kisoga Akaama!

Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu Bintubizibu atenderezza omukulu w’essomero lya St. Balikuddembe S.S Kisoga, Lydia Lukwago Kagoya olw’omulimu ogw’amaanyi gw’akoze mu ssomero lino emyaka emitono gye yaakamala ng’omukulu waalyo. Ssekiboobo agamba nti nga Munnakyaggwe amaze emyaka mu kitundu kino, mu myaka egikunukkiriza mu 30 essomero lino gye limaze abadde aliraba […]

Coffee Will Remain a Big Financial Muscle for Buganda Even Without UCDA – Katikkiro

The second Deputy Katikkiro of Buganda, Robert Wagwa Nsibirwa has appealed to Buganda farmers not to be derailed by the parliamentarians’ bid to pass a law rationalising the Uganda Coffee Development Authority (UCDA), but to continue growing coffee as the mainstay of their wellbeing. Nsibirwa, who doubles as the Buganda Kingdom’s treasurer noted that it […]

Wadde UCDA Evuddewo, Obwakabaka Tebugenda Kupondooka Ku Mmwanyi-Katikkiro

Oluvannyuma lwa palamenti ya Uganda okuyisa ekiteeso ekiggyawo ekitongole ekibadde kivunaanyizibwa ku kutumbula omutindo gw’emmwanyi n’okuzirabirira ekya UCDA, Obwakabaka bwa Buganda buvuddemu omwasi nga bugamba nti wadde byonna bikoleddwa, tebugenda kupondooka ku nsonga y’okukunga abantu mu Buganda n’ebweru waayo okulima emmwanyi. Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda ow’okubiri, Robert Wagwa Nsibirwa agambye nti tekikyali kya nkiso, […]

Buddu Ewangudde Kyaggwe mu Mpaka Z’Amasaza 2024

Essaza lya Buddu liwangudde ery’e Kyaggwe mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2024. Omuzannyi Micheal Walaka y’ateebedde Buddu ggoolo emu yokka mu kitundu ekisooka, ng’eno gye bazibidde okumalako eddakiika 90. Essaza ly’e Buddu lyakawangula ekikopo ky’Amasaza emirundi kati esatu ng’ogwasooka gwali gwa 2016, 2021 ne 2024. Ddyo essaza ly’e Kyaggwe guno gwe mulundi gwe lisookedde ddala […]

error: Content is protected !!