Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo yalangiridde enkyukakyuka mu basumba n’abaweereza abalala ab’ekkanisa mu bulabirizi bw’e Mukono.
Enkyukakyuka zino omulabirizi yazirangiriridde mu kkanso y’obulabirizi ey’omulundi ogw’e 63 eyatudde mu Bp. Ssebaggala Synod Hall ku Lwokuna. Eno ye kkanso ya Bp. Kagodo ey’okubiri gy’akubirizza bukyanga atuuzibwa ng’omulabirizi w’e Mukono ow’okutaano nga 25/2/2023 ng’ono yasikira Bp. James William Ssebaggala.
Omulabirizi ng’alangirira enkyuksakyuka zino yasabye abaweereza be zikutteko okuzitwala mu mutima mulungi n’agamba nti zaakoleddwa n’obwegendereza n’ekigendererwa eky’okutwala mu maaso obulabirizi bw’e Mukono.
“Enkyukakyuka zino zaalowoozeddwako bulungi, mweteeketeeke muziteekese mu nkola bulungi olw’okutwala mu maaso obuweereza bwaffe n’obulabirizi,” Kagodo bwe yategeezezza.
Mu bamu abaakyusiddwa, mwe muli Canon Edward Kironde Balamaze abadde Ssaabadinkoni w’e Lugazi eyakyusiddwa n’azzibwa e Seeta, Canon David Mpagi abadde Ssaabadinkoni w’e Seeta eyakyusiddwa n’atwalibwa e Lugazi, Rev. Canon Robert Kiwanuka Mulinde abadde e Mpumu yasindikiddwa Nakibizzi, Rev. Ven. Charles Bukenya abadde e Ndeeba yasindikiddwa Bukoba, Ven. Canon Wilson Kisekka abadde e Bukoba yasindikiddwa Ndeeba sso ng’ate Rev. Christopher Kezaala yasindikiddwa Mpumu.
Ekyukakyuka mu bulambulukufu
Rev. Ntale – chaplain Cornerstone Junior School
Rev. Jennifer Nambi – Makindu CDC ku Makindu Church of Uganda
Rev. Denis Katatoma – chaplain Seeta High Schools
Rev. Fred Kat – Busaana Town Church
Rev. Kisitu – Mulajje parish nga Vviika.
Rev. Mulunga – Galiraaya nga Vviika.
Rev. Kennedy Mukomba – St. Luke Buikwe ng’omumyuka wa Vviika.
Rev. Dan Muwanguzi – Namagabi nga Vviika.
Rev. Canon Mesach Lubega – Kitimbwa Vviika.
Rev. Ssendagire – amyuka Vviika e Ndeeba.
Rev. Ronald Musoke – amyuka Vviika e Kisowera.
Rev. Canon Geoffrey Kagoye – Vviika St. Dunstan.
Rev. Kambayaya okuva e Buzaama n’atwalibwa e Nsuube nga Vviika.
Rev. Alex Paul Ssekabembe okuva ku St. Luke Buikwe n’asindikibwa e nga Vviika e Buzaama.
Rev. Ivan Kiberu – Namuyenje nga Vviika.
Rev. George Kirumira okuva e Kyabakadde asindikiddwa Lugazi ng’omumyuka wa Vviika.
Rev. Mesach Matovu -Najjembe nga Vviika.
Rev. Ddamba okuva e Kyetume yasindikiddwa Kyabakadde ng’amyuka Vviika.
Rev. John Bumanye okuva e Ntaawo yansindikiddwa Kyetume nga Vviika.
Rev. Samuel Kakooza okuva e Koome-Kasokoso yansindikiddwa Busaabaga ng’omumyuka wa VViika.
Rev. Kwegobola – Gulama nga Vviika.
Rev. Kayaga okuva e Kanjuki S.S yasindikiddwa mu masomero e Seeta ng’amakanda agenda kugasimba mu Seeta Parents P/S.
Ord. Paul Kivumbi okuva e Nakanyonyi – Kitwe ng’omumyuka wa Vviika.
Rev. Samuel Tumwesigye Muzawula okuva ku Seeta Parents – Ntaawo ng’omumyuka wa Vviika
Rev. Mitala Kayini – Kiwumu nga Vviika.
Rev. William Kiggundu okuva e Kiwumu – Kayini nga Vviika.
Ord. Joel Ssembuusi – amyuka Vviika e Nakibizzi.
Rev. Erisa Walusimbi – amyuka Vviika e Seeta era atwala ekitongole ky’obulabirizi eky’eby’enkulaakulana n’okubuteekerateekera.
Rev. Seth Musoke, Seeta abadde amyuka Vviika e Seeta yagenda okukola ng’atwala eby’enjigiriza mu bulabirizi.
Rev. Micheal Muwemba abadde e Seeta asindikiddwa Kikakanya nga Vviika.
Ord. Anthony Kabula abadde amyuka capuleyini wa Bishop S.S asindikiddwa mu Seeta High School nga capuleyini.
Mub. Jacqueline Muyimbwa – Kanjuki s.s nga capuleyini.
Rev. Dr. Asaph Wasswa agenda kubalirira bitabo bya bulabirizi.
Rev. Daniel Balabyekkubo Vviika wa Lutikko e Mukono.
Rev. Edward Muyomba Vviika e Nsambwe.
Abakyusiddwa basuubirwa okutuuka mu bifo bye baasindikiddwamu ku nkomerero y’omwaka nga baba baakutandika obuweereza ku ntandikwa y’omwaka ogujja 2024. Wabula omulabirizi era yategeezezza nti enkyukakyuka zikyagenda mu maaso mu kiseera kino nga bw’akyayongera okubaako bye yeetegereza.