Lwomwa Eria Luggya Lwasi, omukulu w'ekika ky'Endiga.

Omukubiriza W’olukiiko Lw’Abataka mu Buganda Akunze Lwomwa Okugatta Bazzukulube

1 minute, 3 seconds Read

Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Jjajja Namwama Augustine Kizito Mutumba akunze omukulu w’ekika ky’Endiga omuggya, Eria Luggya Lwasi okufuba okugatta bazzukulube abeeyawuddemu ebiwayi by’agambye nti bye byaviirako n’okuttibwa kwa Lwomwa omubuze, Ying. Daniel Bbosa.

Okuvaayo ku nsonga eno, Jjajja Namwama abadde ayogera eri Lwomwa Luggya Lwasi oluvannyuma lw’okumumwanjulira mu butongole ku Bulange e Mengo.

Lwomwa omubuze, Ying. Daniel Bbosa yakubibwa amasasi agaamuttirawo abazigu abaali batambulira ku bodaboda nnamba UFX 854F ng’eno baali bagifuddefudde ng’esoma nnamba UEX 754E.

Poliisi Esimbye Bataano mu Kkooti mu Gw’okutta Lwomwa

Abatuuze b’e Lungujja Lwomwa gye yattirwa baawondera abazigu ne babakuba ng’omu ku bano, Enock Sserunkuuma baamutta ate Noah Luggya poliisi yasobola okumutaasa ng’oluvannyuma ono yajjanjabibwa mu ddwaliro e Mulago gye yava n’asimbibwa mu kkooti n’abalala ne basomerwa omusango gw’okutta Ying. Bbosa.

Olukiiko Lwomwa Eria Luggya mwe bamwanjulidde eri omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka lwetabiddwamu abataka b’obusolya ab’ebika eby’enjawulo ne bakatikkiro baabwe, Minisita w’abavubuka, emizannyo n’ebitone Owek: Robert Sserwanga Ssalongo, Ssabaganzi Emmanuel Ssekitoleko, n’abalala.

Namwama awanjagidde poliisi okukola ekisoboka okulaba nga bavaayo n’eky’enkomeredde ku kyaviirako okuttibwa kwa Lwomwa omubuze Daniel Bbosa.

Bya Kizito Hussein, Ow’ekitongole ky’amawulire n’okukunga abantu mu ggombolola ya Ssaabagabo Ngogwe

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!