Omusumba wa Klezia atwala essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza agguddewo ennyumba amatiribona eya ba ffaaza ezimbiddwa Abakristu ku kigo kya St. Andrew Kaggwa Kichwa.
Omusumba Kakooza asiimye Abakristu, ba ffaaza abakulembeddwa bwanamukulu, Fr. Denis Kibirige n’omuyambiwe, Fr. Henry Wamala ssaako ba Ssaabakristu ab’enjawulo abazze babakolamu omulimu gw’okusonda ensimbi ezizimbye ennyumba eno okumalirira ddala ebbanga lya myaka 11 gye bamaze nga bazimba. Ekigo kino kisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.
Emikolo gitandise na kitambiro kya mmisa ekikulembeddwamu Bp. Kakooza yennyini mw’asinzidde okulabula Abakristu okwewala abantu abeesomye okubafera ensimbi ng’abamu beerimbika mu masabo ne babaggyako ensimbi nga beefuula ababayamba okubawonya ebizibu eby’enjawulo ebibasuza nga bakukunadde nga lumonde mu kikata.
Bp. Kakooza abadde ayanukula Ssaabakristu w’ekigo kino ekya Mpoma-Kichwa, Augustine Matovu amutegeezezza nti ku bimu ku bikyabasomooza, bwe busamize obukyakudde ejjembe nga busimbye nnyo amakanda n’agamba nti eddiini ekyetaaga okwongerwamu amaanyi okubunyisibwa mu bantu.
Omusumba agambye nti kati emyaka gisoba ne mw’asatu bukyanga yaggula olutalo ku masabo ng’agookya n’okugamenya ng’eriyo abaamusaasira nga bwe yali agenda okufa. Bano nno abakubye akakule n’agamba nti ebyo bye baali bamusaasira byali bya ppa, kuba atuuse kukaddiwa nga teri kye yali afunye kimukanga nga kyekuusa ku masabo ge yayokya.
“Nze nno ne bwe nnaaba wa kufa, mpozzi nja kufa ppuleesa oba ssukaali naye si masabo,” bw’agambye.
Akkaatirizza nti emyaka gyekulunguludde bukyanga Fr. Anatoli ategeeza abantu nga bw’etali mayembe wadde ebyawongo byonna mu masabo ebirina amaanyi oba eby’ogera n’agamba nti ono yatuuka kusaba basamize nti oyo amanyi nti alina amayembe agoogera, agaggyeyo mu lujjudde googere wadde nga ne gye buli eno, teri yali agaggyeyo.
Bp. Kakooza era alabudde ne ku beekweka mu ddiini nga bagamba nga bwe bagoba obwavu, okuwonya endwadde kyokka nga bino abisambazze n’agamba nti Katonda y’awonya endwadde oba okugoba obwavu n’okugaggawaza n’agamba nti teri Pasita alina maanyi ago.
“Ogendaa n’olaba oli ng’asaabira abantu ng’akozesa amaanyi mangi nnyo n’okutuuyana n’atuuyana n’abasaba bakomewo n’enkeera, naye nno okwo si kukooyeza bantu bwereere! Baleme kubamalira budde, Katonda ggwe bw’omusaba asobola okukuwonya oba okukuwa ekyo ky’osabye nga totaddeemu na maanyi ga njawulo,” bw’annyonnyodde.
Ono oluvannyuma agguddewo ennyumba ya baffaaza wakati mu nkuba ebadde etonnya n’agiwa n’omukisa. Abadde ayambibwako bwanamukulu w’ekigo kya Kichwa, Fr. Denis Kibirige n’omuyambiwe Fr. Henry Wamala, ssaako Fr. Ignatius Ndawala bwaanamukulu w’e Naggalama ne Fr. Johnmary Vianney Kyeyune bwanamukulu wa St. Charles Lwanga Buguju.
Fr. Kibirige ategeezezza nti mu kulambula Abakristu mu kigo kino, yasanga nga bangi mu maka gaabwe balinayo amasabo wadde ng’ate bano be bamu bajja ne mu klezia gye babafubyeko okulaba nga bakyuka bave mu kwesiga ebitaliimu.
“Nga tuyita mu mmisa ze tugendaa tusoma mu bubondo ne mu maka g’Abakristu baffe, wadde abamu batuggalira ebweru w’ebikomera, zituyambye nti abamu bagenze bakyuka mpola ne bakomawo eri omukama,” bw’annyonnyodde.
Agambye nti oluvannyuma lw’okuzimba ennyumba eno, kati amakanda bagazzizza ku gwa kuzimba Goloto ya Bikira Maria egenda okumalawo obukadde bw’ensimbi asatu mu butaano (sh35m).
Ye Ssaabakristu w’essaza ly’e Lugazi, Charles Kabanda ng’ono agenda kuwummula emirimu olunaku lw’enkya ku Ssande nga December 10, asiimye abakristu bw’e Kichwa-Mpoma olw’omulimu guno ogw’okuzimba n’okumaliriza ennyumba y aba Ffaaza n’agamba nti bano bazzizzaamu Bp. Kakooza amaanyi agaggulawo n’ebigo ebirala bingi.
Ekigo kya St. Andrew Kaggwa Kichwa Mpoma kiwezezza emyaka ebiri n’emyezi kkumi bukyanga kitondebwawo nga kyakutulwa ku ky’e Naggalama.