Abagenze mu Loogi Okwesanyusa Beeremeddemu ne Badda mu Miranga

1 minute, 48 seconds Read

Ebyewuunyisa nga bwe bitaggwa mu nsi, abatuuze mu tawuni kkanso y’e Buwenge mu kibuga ky’e Jinja beerabidde katemba atali musasulire ab’omukwano abaagenze mu loogi okwesanyusaamu ate bwe beeremeddemu.

Abakozi mu Jojo Bar and Lodge bassizza abantu enseko bwe baagambye nti mu kiro ekyakeesezza Olwokuna, ab’omukwano bano beesozze akasenge era ne batandika okukola ogwabatutte. Bano mu ngeri eringa ey’okusaaga bagamba nti abaatandise ng’omukyala enduulu akuba za ssanyu na kuzzaamu kabiitewe maanyi, baagenze okuwulira ng’ate enkuba yaazo ekyuse ng’eddoboozi liri waggulu.

Abaagudde ku kibabu kuliko Alex Muhumuza ne Sarah Namagoye.

Omusajja ng’ava ku kabangali ya poliisi eyamuggye mu ddwaliro e Buikwe ng’abasawo bamaze okubagattulula.

Mbu tebaabatataaganyizza ekiro ekyo nga balowooza nti byabulijjo, kuba abamu ku batera okugenda mu loogi omuzannyo bwe gutaba amaloboozi gamanyi okugenda waggulu nga tebamanyi nti bali na mu loogi.

Wabula mbu nga bukedde, baagenze okuwulira ng’enduulu zizzeemu okukwata naye ng’ate ziringa ez’obulumi.

  1. Omukyala ng’omusikale omuwerekera okugenda ku poliisi e Buwenge.

Mbu ab’omukwano baasabye obuyambi nga bagamba nti omusajja yabadde alemedde mu mukyala! Kino kyasombodde abantu abaaweredde ddala nga muno ne poliisi mwe yaggyidde.

Kigambibwa nti omusajja atemera mu gy’obukulu 38 nga mutuuze w’e Kawolo mu munisipaali y’e Lugazi mu disitulikiti y’e Buikwe nga muvuzi wa mmotoka, oluvannyuma lw’okufuna ekyoyooyo, yafunye omwagalwa ne bagenda mu loogi okwesanyusaamu wabula ensonga ne zibasobako.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu ky’e Kiira, James Mubi ategeezezza nti bano baatwaliddwa mu ddwaliro lya Buwenge Health Centre IV abasawo ne babakolako oluvannyuma ne babatwala ku poliisi e Buwenge ng’okubanoonyerezaako kwatandise.

Kigambibwa nti guno si gwe mulundi ogusoose abaagalana okweremeramu mu kitundu kino ng’omwaka oguwedde waliwo omuvuzi wa takisi okuva mu Swanu zooni eyakyaza omukyala mu nnyumba gye yali apangisa ng’eno embeera gye yabadoberako okukkakkana ng’omusajja alemedde mu mukyala ne basaba obuyambi.

N’e Seeta mu munisipaali y’e Mukono, eriyo abafumbo abaali mu loogi ne beeremeramu nga ne bano baayamba bayambe ng’embeera ebasusseeko.

Waliwo endowooza nti embeera eno eva ku ddogo erikolebwa naddala ssinga omu kw’abo aba mufumbo ng’omwagalalwa amuleseewo n’agenda okwenda ebbali.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!