Dr. Matthew Kirabo atuusiddwa ku kkooti e Mukono mu bukuumi obw’amaanyi okuva mu basirikale b’ekitongole ky’amakomera ng’agenda kuweebwa ekibonerezo mu musango gw’okutta muganziwe.
Kirabo yasingisibwa omusango gw’okutta Desire Mirembe eyali omuyizi mu Makerere University mu mwaka gwa 2015. Wabula wakati ng’omusango guno guwulirwa, Kirabo yabulawo era omulamuzi eyali my mitambo gy’omusango guno ensala ye yagiwa era n’omusingisa ogw’okutta Mirembe wadde nga yali taliiwo olwo okumuwa ekibonerezo n’akujuliza ng’akwatiddwa.
Kirabo yakwatibwa Poliisi ya Interpal my ggwanga lya Kenya omwaka guno mu mwezi gwa September n’azzibwa ku butaka n’asimbibwa mu kkooti n’atwalibwa mu kkomera e Luzira gy’abadde n’okutuusa olwaleero lw’asuubirwa okusalirwa ekibonerezo.
Ono abadde asibiddwa ku mpingu, ng’akuumibwa butiribiri abasirikale b’ekitongole ky’amakomera, abadde ayambadde ‘mask’ mu maaso, ng’ali mu mujoozi ogw’ekikuusikuusi n’empale eya kivuuvu ssaako engatto enzirugavu.
Atwaliddwa butereevu mu kaduukulu ka kkooti gy’akyakuumibwa mu budde buno nga bw’alindiridde okuleetebwa mu kkooti omulamuzi wa kkooti enkulu Henry Kaweesi ali mu musango gwe amusalire ekibonerezo.
Mu kiseera kino, ab’oluganda lw’omugenzi Mirembe n’ab’omusibe bali bulindaala ku kkooti nga bw’alindiridde ensala ya kkooti olwo emitima egibeewanise mu budde buno gisobole okubakka.
Ebyafaayo mu musango guno;
Desire Mirembe yattibwa mu mwaka gwa 2015 omulambo gwe ne gusuulibwa mu bikajjo bya Mehta e Lugazi. Oluvannyuma Poliisi yakwata Kirabo eyali muganziwe eyabakulemberamu n’abatwala bukokkolo ewaali waasuulibwa omulambo e Lugazi era n’akkiriza okutta omugenzi oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya mu mukwano gwabwe.
Ono yasimbibwa mu maaso g’omulamuzi akulira kkooti ento e Jinja n’asomerwa omusango gw’okutta Mirembe era n’amusindika ku limanda mu kkomera.
Nga November 24, 2016, yasobola okuteebwa ku kakalu ka kkooti ng’asabye nti yali agenda kumaliriza misomo gye egy’obwa ddokita mu yunivasite e Makerere.
Omusango guno oluvannyuma gwazzibwa mu kkooti e Mukono ku biragiro by’omulamuzi Yorokamu Bamwine, oluvannyuma lw’omuwaabi wa gavumenti okutegeeza ng’omusango guno bwe gwali gwazzibwa mu kitundu ekigwa wansi wa kkooti eno. Mu mwezi ogw’okutaano, Omulamuzi Dr. Flavian Zeija yafuna okwemulugunya okuva mu b’oluganda lw’omugenzi ng’omusango guno bwe gwali gususse okutambula akasoobo era n’asuubiza okukola ekisoboka kuwozesebwe guve mu ddiiro. Wabula ng’omusango gugenda mu maaso, Dr. Kirabo eyali awozesebwa ng’ava waka yabulawo ekyagotanyaamu empozesa y’omusango guno, oluvannyuma omulamuzi Kaweesi yasalawo okuguwozesa kugende mu maaso wadde ng’omuwawaabirwa yali taliiwo era n’awa ensala ye ng’omuwawaabirwa omusango gumusse mu vvi. Ono yalagira ab’eby’okwerinda okunoonya Kirabo akwatibwe olwo alyoke awe ensalaye.