Bya Tonny Evans Ngabo
Oluvannyuma lw’emyaka n’ebisiibo nga gavumenti esuubiza abantu b’e Nakawuka okukola oluguudo lwabwe okulukuba kkoolansi, kyaddaaki omulimu guno eguggyeko akawuuwo.
Okutongoza okukuba oluguudo luno kkoolansi kukoleddwa Ssaabaminisita Nabbanja ng’omukolo gusitudde ebikonge omuli Minisita w’enguudo n’emirimu, Gen. Edward Katumba Wamala, ababaka ba palamenti okuli owa disitulikiti y’e Wakiso omukyala, Betty Ethel Naluyima, ssaabakunzi wa NRM, Rosemary Nansubuga Sseninde, eyaliko omubaka Peter Ssematimba n’abalala.
Ng’ayogera, Nabbanja ategeezezza nti ku mulundi guno azze na nkuba mpya oluvannyuma lwa mukamaawe President Yoweri Kaguta Museveni okumwongera ekisanja nga Ssaabaminisita ng’agamba nti essira waakuliteeka ku nkulakulana mu bitundu ebiri mu masekkati g’eggwanga.
Nabanja yasinzidde Nakawuka mu Kajjansi ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Wakiso bwe yabadde atongoza omulimu gw’okukola enguudo okuli Kisubi-Nakawuka – Nateete, Nakawuka -kasanje -Mpigi, Nakawuka – Mawugulu – Nanziga – Maya, Kasanje – Buwaya ne Entebbe – Nakiwogo nga zonna omugatte ziwezza kilo metre 72 nga kkampuni ya China Communication Construction Company (CCCC) yeeweereddwa omulimu guno ogusuubirwa okuggwa mu banga lya myaka esatu.
Ssaabaminisita era yalagidde mbagirawo eddwaliro lya Nakawuka Health Center III okulinyisibwa ku mutendera lifuulibwe Health Centre IV ng’agamba nti kino kyakuyamba okusuumusa empeereza yaalyo kiyambe abantu abaliganyulwamu oluvannyuma lw’okwongeza ku basawo be lifuna, eddagala n’obuweereza obulala.
Wabula Nabbanja mu mbeera eno yategeezezza nga bw’agenda n’okusindika ttiimu egende e Wakiso ebulirize ku nsonga y’abasawo abasangulwa ku nkalala z’abakozi ba gavumenti abalabika okuba nga bakyafuna omusaala gwa gavumenti nga kino kiddiridde olukalala olwamuwereddwa amyuka CAO we Wakiso Betty Nankindu nga lulaga abamu ku ba Nursing assistants gavumenti be yajja edda ku lukalala.
Minisita w’enguudo n’emirimu, Gen Edward Katumba Wamala yategeezezza nga gavumenti bw’egenda okunonya ensimbi obuwumbi 340 okuliyirira abantu ku luguudo luno nga era essaawa eno ensimbi ezo tebanazifuna wabula n’asaba abakulembeze boogerezeganye n’abatuuze okukkirizza omulimu guno gugende mu maaso.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika wamu n’omubaka omukyala akiikirira disitulikiti eno Betty Ethel Naluyima baasabye Ssaabaminisita Nabbanja okwanjula mu cabinet ekiteeso ky’okulaba nga disitulikiti y’e Wakiso eweebwa embalirira y’ensimbi ey’enjawulo okusinziira ku musolo gwe basolooza.
Fan Wenjun genero maneja wa kkampuni ya CCCC eyeewangulidde ttenda y’okukola enguudo zino yakakasizza nga bwe zigenda okukolebwa ku mutindo gw’ensi yonna ate mu kiseera kyennyini ekibaweereddwa.
Kinajjukirwa nti oluguudo lw’e Nakawuka lumaze ebbanga nga lya myaka egisoba mu 15 nga gavumenti esuubiza okulukola naye nga tekituukiriza wabula kati abaayo batandise okufuna ku kamwenyumwenyu.