Amaka 24 Agakuuma Abaana Abatalina Mwasirizi mu Bukyamu Gaakuggalwa

1 minute, 34 seconds Read

Gavumenti ng’eyita mu Minisitule y’ekikula ky’abantu emalirizza enteekateeka z’okuggala amaka agakuuma abaana abagambibwa okuba nga tebalina mwasirizi 24 nga gano gasangibwa mu disitulikiti y’e Mukono.

Okusinziira ku mukungu okuva mu minisitule, Shafiq Butanda, amaka gano 24 gateeberezebwa okuba nga gakuumirwamu abaana 1200 wabula nga bano baliyo mu bumenyi bw’amateeka kuba Minisita w’ekigula ky’abantu avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana tagawanga lukusa lukola mulimu guno.

Butanda agambye nti enteekateeka eno etandikidde Mukono ng’egenda kubuna eggwanga lyonna ng’okuva e Mukono baakudda Wakiso n’e Jinja.

Bino byatuukiddwako mu musomo gw’okubangula abakola ku nsonga z’abaana ku munisipaali y’e Mukono ne disitulikiti y’e Mukono ssaako bannamawulire okuva mu mikutu gy’amawulire egy’enjawulo gye basuubira okusasaanya amawulire bwe banaaba batandise omulimu guno ng’omusomo guno gwayindidde ku Colline Hotel e Mukono.

Butanda yategeezezza nti bamaze ebbanga nga beeteekerateekera ensonga eno ng’era baliko abazadde 200 be basomesezza ne bafuna obukugu bw’okulabirira abaana abatali baabwe (Foster parents) nga ku bano, 27 baafuna dda abaana be balabirira.

James Ntege, akola ku nsonga z’amaka n’abaana mu disitulikiti y’e Mukono yategeezezza nti  mu disitulikiti y’e Mukono balina amaka 11 agakkirizibwa mu mateeka okukuuma abaana abatalina mwasirizi wabula ng’ate amalala mangi agatali mu mateeka agakola omulimu gwe gumu mu bumenyi bw’amateeka.

Butanda yalabudde bannanyini maka agagenda okuggalwa obutageza kuggulawo ago aganaaba gaggaddwa n’agamba nti bwe banaakikola baakutwalibwa mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.

Butanda ng’asomesa ab’amawulire e Mukono.

Mu ngeri y’emu, Butanda yagambye nti abazadde ensangi zino bangi basuula abaana abazaalibwa nga baliko obulemu oba abo abafuna obulemu nga bamaze okuzaalibwa nga baliko bangi abali mu maka agakuuma abaana nga bakuze basoba ne mu myaka 18 naye nga tebaliiko baabwe.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!