Kabaka wa Buganda, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi okulaba w’e gutuuse.
Omuteregga asiimye ebikolebwa n’agamba nti omulimu guwa essuubi era guzzaamu amaanyi.
Mu masiro g’e Kasubi we wasangibwa ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga ng’eno Bassekabaka ba Buganda abana abasembayo mwe baaterekebwa.
Amasiro gano abatamanyangamba baagateekera omuliro nga March 17, 2010 nga n’okutuusa olwa leero, alipootaa enzijuvu erambika kalonda akwata kw’ani yali emabega w’ekikolwa kino eky’obutemu eri Obwakabaka bwa Buganda tefulumizibwanga.
Oluvannyuma lw’okulondebwa n’atuula mu ntebe y’obwa Katikkiro wa Buganda, Mukuumaddamula, Charles Peter Mayiga yakulemberamu omulimu gw’okukunga abantu ba Kabaka ne basonda ensimbi ez’okuzzaawo amasiro gano era we twogerera ng’omulimu gunaatera okuggyibwako akawuuwo.