Ebizuuse Kw’abadde Akulira Abakuumi ba Kabaka Eyadduse Bitiisa-Yatabuka ne Bakamaabe E Mmengo Okuva Kabaka lwe Yalwala

Oluvannyuma lw’okufulumya eggulire ely’okubulawo kw’abadde akulira abakuumi ba Kabaka, munamagye Capt. Edward Ssempijja, Olupapula lwa Bukedde lwongedde okuzuula bwiino akwata ku nsonga eno. Bukedde olwaleero olw’okutaano nga May 17, 2024 awandiise n’alaga nga Capt. Ssempijja bwe yalinnya ennyonyi nga mu kiseera kino ali Canada gy’ali mu kugoba ku mpapula ezimubeeza mu nsi eyo nga taliiko […]

Kabaka Ali Bweru Afuna Bujjanjabi-Katikkiro

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda nti Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ali bweru ggwanga gye yagenda okufuna obujjanjabi.  Katikkiro ategeezezza nti Nga March 21, 2024, Kabaka yagenda ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi wabula ng’embeera y’obulamu bwe tennamusobozesa kukomawo kuba abasawo be bakyetaaga okumwetegereza engeri omubiri gye gutambuliramu ku bujjanjabi obumuweebwa. Bino […]

TikToker Pressure Eyasibwa Olw’okuvvoola Museveni ne Kabaka Kkooti Emutadde

TikToker Ibrahim Musana amanyiddwa ennyo nga Pressure 24/7 eyaggalirwa olw’okuvvoola Pulezidenti Museveni ne Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II kyaddaaki kkooti emukkirizza okweyimirirwa. Pressure abadde mu maaso g’akulira abalamuzi mu kkooti ya Buganda Road, Ronald Kayizzi. Omulamuzi Kayizzi akkirizza Pressure okweyimirirwa ku kakalu ka nsimbi obukadde bubiri ez’obuliwo olwo ate abamweyimiridde ababiri obukadde 20 […]

Nuliat Nakangu Kyazze Awangudde Empaka Z’obwannulungi ez’essaza Ly’e Kyaggwe

Empaka z’obwannalulungi ezimaze ebbanga nga ziyindira mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaggwe kya ddaaki zikomekkerezeddwa. Abawala ababalagavu 10 be batuuse ku z’akamalirizo ku mukolo oguyindidde ku Bredo Hotel mu kibuga Mukono.  Omumyuka wa Ssekiboobo nnamba bbiri omugole ekyaliko n’omuzigo, Fred Katende y’abadde omugenyi omukulu ku mpaka zino ng’abasazi baazo bayokyezza abavuganyizza ebibuuzo ku nsonga ez’enjawulo […]

Kabaka Asiimye Ssekiboobo Boogere N’amuwa Emmotoka Ng’ekirabo Olw’obuweereza Obulungi

  BYA BRENDA NANZIRI Abadde Ssekiboobo atwala essaza ly’e Kyaggwe, Elijah Boogere Lubanga Mulembya, Ssaabasajja Kabaka gwe yasiimye awummule oluvannyuma lw’emyaka etaano egy’obuweereza awaddeyo woofiisi eri amuddidde mu bigere. Omukolo guno ogubadde ku mbuga y’essaza ly’e Kyaggwe gukoleddwa mu maaso ga Minisita wa gavumenti ez’ebitundu e Mengo Joseph Kawuki n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo ku mutendera […]

Poliisi Y’akukunya Abakulu mu Bwakabaka bwa Buganda 6 ku Byekuusa ku Ttemu Ly’omukulu W’ekika Ky’Endiga

Poliisi ng’eri wamu n’ebitongole by’eby’okwerinda ebirala enyinnyittizza okubuuliriza ku butemu bw’emmundu obwakoleddwa ku mukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa eyakubiddwa amasasi agaamutiddewo ku Ssande e Lungujja mu kibuga Kampala. Wabula ekitiisa mu nsonga eno, kwe kuba nti okubuuliriza kwa poliisi kusonze ne mu bamu ku bakungu mu Bwakabaka bwa Buganda nga mukaaga ku bano […]

Kabaka Alambudde Omulimu Gw’okuzzaawo Amasiro G’e Kasubi

Kabaka wa Buganda, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi okulaba w’e gutuuse. Omuteregga asiimye ebikolebwa n’agamba nti omulimu guwa essuubi era guzzaamu amaanyi. Mu masiro  g’e Kasubi we wasangibwa ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga ng’eno Bassekabaka ba Buganda abana abasembayo mwe baaterekebwa. Amasiro gano abatamanyangamba baagateekera omuliro nga March 17, 2010 nga […]

error: Content is protected !!