Abantu ba Kabaka okuva mu bitundu bya Buganda ne Uganda eby’enjawulo beeyiye mu bungi mu Lubiri e Mengo mu kivvulu kya Leediyo y’Obwakabaka eya CBS ekya buli mwaka eky’Enkuuka Tobongoota.
Bano bakulembeddwa abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuva mu Bwakabaka bwa Buganda n’abalala okuva mu gavumenti eya wakati.
Wadde ng’ebadde nnono ya buli mwaka Kabaka okwetaba mu Nkuuka n’aggalawo omwaka omukadde ate n’ayingiza abantu be mu mwaka omupya, ku mulundi guno Magulunnyondo taalabiseeko ng’era akiikiriddwa Lubuga Dr. Catherine Agnes Nabaloga ng’era ono y’akoze obulombolombo bw’okuggalawo n’okuggulawo omwaka eri abantu ba Beene.
Wabula mu ngeri ey’enjawulo, Kabaka olunaku lw’eggulo yalabiseeko mu Lubiri ne yeetegereza engeri enteekateeka gye zaabadde zikwatiddwamu, n’asiima n’abaako abantu be yabuuzizzaako oluvannyuma n’alinnya emmotoka ye ne yeeyongerayo.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, Abaana b’Engoma okuli Omulangira Richard Ssemakookiro ne Chrispin Junju nabo babaddewo.
Abakulembeze okuli ba Minisita ba Kabaka e Mengo, ababaka ba palamenti nga bakulembeddwa akulira oludda oluvuganya gavumenti omuggya, Joel Ssenyonyi, Omuloodi w’ekibuga Kampala, Elias Lukwago, n’abalala bangi abatalutumiddwa mwana.
Empaka z’Entanda ya Buganda eya CBS ze zasooseewo nga zaawanguddwa Omuzira mu Bazira Kizito Kiberu Kamya n’obugoba 37.
Abayimbi, bakazaannyirizi baaatandise okusanyusa abantu ba Beene okuviira ddala emisana n’okutuuka gye buli eno aate nga bangi bakyali ku lukangagga.
Mu bamu ku baakayimba mwe muli Omusiime Mesach Ssemakula, Dr. Hilderman Mazongoto ng’amannya ge amatuufu ye Hilary Kiyaga, Geoffrey Lutaaya, Fred Ssebatta, King Saha, Sophie Nantongo, Irene Namatovu, Pius Mayanja amanyiddwa ennyo nga Pallaso n’abalala bangi.