Abadigize ku Colline Hotel e Mukono nga banyumirwa endongo, mu katono ye muyimbi Chosen Becky.

Chosen Becky Akeereye Okutuuka mu Kivvulu ne Bamumma Ssente N’atabukira Abategesi

1 minute, 59 seconds Read

Omuyimbi Chosen Becky omwaka omupya tegumutandikidde bulungi n’akatono oluvannyuma lw’okukuba obuvvulu obungi mu kiro ky’okuyita mu mwaka n’atuuka kikeerezi mu kivvulu ekimu e Mukono n’afuna obutakkaanya n’abategesi mu by’ensasula!

Becky oluvannyuma lw’okulwawo okutuuka n’asanga ng’abasinga ku bantu n’okufuluma bafulumye ku Colline Hotel, yakutte akazindaalo n’ayimba kyokka teyagenze wala n’asaba basooke bamusasule yeeyogereyo nga kino abategesi baakiziimudde n’atabuka.

MC Galaxy naye yakutte akazindaalo n’amutegeeza nti waddembe okuyimbako ennyimba ezigya mu ssente ze baamuwaako nga kino naye yakigaanye ng’agamba nti abantu tebaasasudde ssente ayimbeko kitundu, waakiri n’abantu babaddize ekitundu ku ssente zaabwe.

Wadde nga n’abawagizi beegasse ku Chosen Becky nga baagala bamusasule, kino tekyasobose era n’apondooka n’agaba akazindaalo n’adda mu ka ng’alaba b’asaba ka bbalansi ssi beetegefu kukamusasula.

Wabula mu kusooka, aba Afrigo Band mu kifo kye kimu kino baabinusizza abadigize amasejjere nga babakuba endongo kuva ssaawa nnya okutuuka lwe zaaweze mukaaga ogw’ekiro.

Abayimbi okutandika ne Moses Matovu, Joanita Kawalya, Racheal Magoola, Rud Boy Divo n’abalala be baasuzizza ab’e Mukono nga babinuka amasejjere nga we zaaweredde essaawa omukaaga ogw’ekiro ate ‘fireworks’ ne zitandika olwo enduulu n’etta abalabi n’ab’obusimu ne babujjayo okwekwatira ku bifaananyi.

Mu bamu ku badigize mwe mwabadde abagagga abali mu kibiina kya Rotary Club of Mukono nga bano aba Afrigo Band be baasinze okubatwalayo.

Olwaweze ssaawa mukaaga ‘fireworks’ ne zitandika olwo bbo aba Afrigo Band ne bannyuka, omuyimbi Big Eye n’abakwatamu ne zidda okunywa.

Big Eye yabakubye luyimba ku luyimba n’abannyuka ssaawa nga musanvu ogw’e kiro. Big Eye yalaze essanyu ng’agamba nti wadde omwaka gwamutandikira bubi ng’abaali abawagizibe ate bamulaga obucaayi olw’ebyo bye yali akkirizaamu mu kiseera ekyo kyokka ngaa kati essanyu alina lya mwoki wa gonja kuba baamuddiramu era kati bamwagala ate nnyo.

Abayimbi ba Afrigo Band, Moses Matovu, Joanita Kawalya ne Racheal Magoola nga basanyusa abantu ku Colline Hotel e mukono.

“Nnakimanya nti oli w’atuukira okukukyawa ennyo, era aba yali akwagala nnyo nnyo, ekyo bwe nnakimanya, ne ntegeera nti nnina okwezuula. Kati eri gye nnali nnavaayo, nadda eno, era Bobi Wine abatumidde,” bakira aayogera ebyo ng’emizira n’ensimbi bamufuuwa.

Big Eye ng’ayimba ku Colline Hotel e Mukono.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!