Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’abadde omukiise w’essaza ly’e Kyaggwe mu lukiiko lwa Buganda, Dr. Donald Ddamilira Muguluma.
Dr. Muguluma ng’abadde mutuuze mu kibuga ky’e Mukono ku kyalo Nabuti okumpi n’essomero lya Seeta Junior School Mukono abadde musawo omutendeke ng’alina eddwaliro mu paaka e Mukono n’e Bweyogerere. Amawulire g’okufa kwa Dr. Muguluma gaafulumye ku Lwokuna ku makya.
Ono abadde munnabyabufuzi era munna DP kakongoliro eyavuganyaako ku kifo ky’obwa meeya wa Mukono tawuni kkanso ng’avuganyiza ku kkaadi ya DP.
Olwa leero ku Lwomukaaga Ku makya ku ssaawa nnya, omubiri gw’omugenzi gugenda kutwalibwa ku Klezia ya St. Paul mu kibuga Mukono okusabira omugenzi n’okumusiima olw’ebirungi by’akoledde Mukono, Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.
Oluvannyuma lwa mmisa ku ssaawa mukaaga, omubiri gw’omugenzi gugenda kutwalibwa mu maka ge.
Ku Ssande nga January 28, ku bijja bya bajjajjaabe e Kaliisizo-Ninzi mu Buddu ku ssaawa 12:00 ez’olw’eggulo.
Ku Mmande nga January 29, ku ssaawa 6:00 waakubeerawo ekitambiro kya mmisa eky’okukulemberamu okuziika ku ssaawa kkumi ez’olw’eggulo.
Omukama Katonda omwoyo gw’omugenzi aguwe ekiwummulo eky’emirembe, n’ekitangaala eky’okubeerera.