Maama W’omwana Wange Olwamukyawa N’anjokya Acid!

1 minute, 59 seconds Read

Eyali omusuubuzi w’eby’ennyanja omwatiikirivu mu bizinga by’e Koome mu disitulikiti y’e Mukono g’akaaba g’akomba oluvannyuma lw’omukazi gwe yazaalamu omwana n’amala n’amukyawa olw’obuyombi okumuyiira ‘acid’.

Ssaalongo Yasin Lukwago (39) ye yeekokkola maama w’omwanawe Barbra Najjuka bwe baali babeera ku kizinga ky’e Ddamba mu ggombolola y’e Kkoome mu Mukono wabula bwe yamukya n’amulukira olukwe n’amuyiira ‘acid’.

Lukwago agamba nti ekikangabwa kino ekyamuleka nga talaba kyamutuusibwako nga October 1, 2016, Najjuka bwe yamuyita akawungeezi ng’ava okulaba omupiira n’amuyiira ‘acid’.

Lukwago nga bw’afaanana kati oluvannyuma lw’okumwokya ‘acid’.

“Nnali muwanga omutwalo gumu ogw’okulabirira omwana buli lunaku kuba yali akyali muto nga kati aweza emyaka musanvu. Bwe yampita nnamugamba nti nnakuwadde ssente ate kati ongamba ki? Bwali bugenze buwungeera, awo we nnafunira eyankubira essimu ne mmugyako ebirowoozo, yali akutte engeri y’ebbakuli, nnagenda okuwulira ng’anjiiridde ebintu ebyanjokya nzenna, nnali ndowooza buugi wabula oluvannyuma ne mmanya nti ‘acid’,” bw’annyonnyola.

Lukwago agattako nti; “Yagezaako okudduka wabula ne bamugoba ne bamukwata, baayagala okumukuba bamutte ne mbasaba baleme kumutta wabula bamukwase poliisi era bw’atyo n’awona.”

Lukwago nga bwe yali afaanana ku ndagamuntu ye nga tebannamwokya acid.

Mu kiseera kino, okusinziira ku Lukwago, Najjuka yasindikibwa mu kkomera e Luzira gy’abadde ebbanga eryo lyonna ng’eby’okumuwozesa bitutte ebbanga nga bisiriseemu okuviira ddala mu mwaka gwa 2019 lwe yakoma okumanya ebifaayo olwo ate ne wajjawo omuggalo gwa COVID 19.

Wabula nga n’eby’okugoberera omusango Lukwago awulira nga by’atakyalinamu bwetaavu, agamba nti embeera gy’ayitamu emuyinze olw’okuba ayita mu bulumi obw’ekika ekya waggulu nga n’eky’okulya takirina sso ng’olw’okuba talaba, okubonaabona mu bulamu nakyo kimukosa nnyo.

“Bansuubiza nti basobola okunnoongoosa ne nziramu ne ndaba naye ssente sizirina. Ate nnina n’obulumi kuba n’ebitundu by’omubiri ebirala ‘acid’ yabyokya, kati sisobola kutuula kumala bbanga ddene, kirabika nkyetaaga obujjanjabi obw’ekikugu, nsaba abazirakisa okunyamba banziruukirire n’obujjanjabi n’ensimbi ez’okwebezaawo,” bwe yasabye.

Lukwago agamba nti abeera Ggaba ne mutabaniwe Yasin Ssali (16) ng’ono n’eby’okusoma yabivaamu olw’obutabaawo ssente ate nga y’alina n’okulabirira kitaawe.

Alina engeri yonna  gy’oyinza okuyambamu Lukwago, yita ku ssimu; 0705055637 mu mannya ga Yasin Lukwago oba 0754021113 mu mannya ga Mastula Nakiganda.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!