Nnaabagereka Nagginda Atongozza Kaweefube Okulwanyisa Obulwadde Bw’emitwe

1 minute, 49 seconds Read

BYA BRENDA NANZIRI

Nnaabagereka Sylvia Nagginda yatongozza kaweefube w’okulwanyisa n’okukendeeza omuwendo gw’abantu abalina obukosefu ku bwongo (mental health illness).

Okusinziira ku basawo mu ggwanga, ekizibu ky’obulwadde bw’obwongo kicaase nnyo ensangi zino wabula nga kaweefube ono waakuyitibwamu okulaba ng’abalwadde b’emitwe basobole okufuna obulamu obweyagaza n’okutema empenda okulaba ng’abalala beewala embeera eziyinza okulwala.

Kaweefube ono ng’atuumiddwa Queen’s Ball, wa kutambulira ku mulamwa gwa “Koleeza ekitangaala okulwanyisa obulwadde bw’emitwe.” (Shine a light: Illuminating Mental Health).

Omukolo gwabadde ku Bulange e Mengo nga gwetabiddwako bannamikago ab’enjawulo abagenda okuvujjirira kaweefube ono.

Mu kimu ku bitunuuliddwa ng’ebivaako okweyongera kw’obulwadde bw’emitwe mwe muli okukozesa ebiragalalagala okuli waggulu ennyo naddala mu bavubuka, abantu abatawaanyizibwa ebirowoozo n’okwennyika kw’emmeeme n’emirala.

Minisita w’enkulaakulana y’abantu era avunaanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka, Cotilda Nakate Kikomeko yeebazizza Maama Nnaabagereka olw’okuvaayo okulaga Bannayuganda ekkubo ku butya bwe balina okunogeramu ekizibu ky’obulwadde bw’emitwe eddagala.

Ssentebe w’olukiiko olufuga ekitongole ki Nnaabagereka Fund, Susan Busuulwa Lubega yategeezezza nti bakwataganye ne Uganda Communications Commission (UCC) okulaba nga babunyisa amawulire agakwata ku bulwadde buno eri Bannayuganda bonna na butya bwe buyinza okwewalibwa era nga bagenda kutandika na mwezi guno ogwa May.

Busuulwa agambye nti Nnaabagereka agenderedde kulaba ng’asuula omukono eri abo bonna abatawaanyizibwa obulwadde kino olwo kijjewo embeera ey’okuswala eri abo ababa babulina ne batuuka okufa ekisiiri nga teboogera buzibu bwe bayitamu.

Akulira ekitongole ky’eby’obulamu eky’ensi yonna mu Uganda, Dr. Yonas Tegegn Woldemariam yategeezezza nti wadde ekizibu kino kyamaanyi mu Uganda, bangi babadde tebakitaddeeko ssira nga nabo mw’obatwalidde wabula ng’oluvannyuma lw’okutuukirirwa Nabagereka, baasazeewo okusitukiramu.

Dr. Yonas ategeezezza nti ku bantu obukadde nga 50 obwa Bannayuganda, ebibalo biraga ng’abantu obukadde 14 be batawaanyizibwa obulwadde bw’emitwe n’agamba nti eby’embi abalwadde ababeera mu misoso gy’ebyalo tebafuna na bujjanjabi kuba n’abasawo mu malwaliro g’ebyalo tebaliiyo.

Nga May 9, 2024, Nnaabagereka ategese ekijjulo ekinabeera ku Sheraton Hotel e Kampala ekituumiddwa Queen’s Ball ekigenda okweyambisibwa okusonderako ensimbi ezinaayambako mu nteekateeka eno.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!