Obuteesiga Gavumenti Buleetedde Pulogulaamu Y’okufukirira ebirime Okuzingama-Dr. Matia Bwanika

1 minute, 27 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Bwanika alaze okunyolwa ng’agamba nti bangi ku Bannayuganda tebaakyesiga pulogulaamu za gavumenti ekiviiriddeko ezimu ku pulogulaamu okukonziba ng’abantu balinga abaazizira.

Ssentebe Bwanika anokoddeyo enteekateeka ya gavumenti mw’eyita okuwa abantu ebyuma ebyeyambisibwa mu kufukirira ebirime emaanyiddwaa nga ‘micro irrigation scheme’ ng’eno mu kiseera kino tennatambula bulungi ng’aabaantu tebagyettanidde wadde nga zzo ensimbi gavumenti yazibawa bazirina ziri ku akawunti zitudde.

 

Ennimiro eyisiddwamu empiira ezigenda okufukirira ku ssomero e Mende.

 

Okusinziira ku yinginiya wa disitulikiti y’e Wakiso, Ying. Joseph Jagwe, mu nteekateeka eno, omulimi asuubirwa okuwaayo ensimbi obukadde butaano ne bamuwa ebyuma ebyeyambisibwa mu kufukirira ebibalirirwamu ensimbi eziri eyo mu bukadde 25. Ebyuma ebiweebwa abalimi bikozesa maanyi ga masannyalaze ga njuba.

Ssentebe Bwanika n’abakulembeze abalala nga balambula ennimiro egenda okutandika okufukirirwa ku ssomero e Mende.

Eby’embi, abalimi abeeteefuteefu okuwaayo ensimbi zino bakyabuze wadde ng’ensimbi zzo weeziri nga n’abalimi mu byalo eyo gye balimira ebyuma ebyeyambisibwa mu kufukirira babyetaaga.

Bino byatuukiddwako Ying. Jagwe bwe yabadde alambuza abakulembeze ba disitulikiti nga bakulembeddwamu ssentebe, Dr. Matia Lwanga Bwanika ennimiro ey’okusomesezaako abalimi abalala ng’eno yatereddwa ku ssomero lya Mende Kalema Memorial Secondary School mu ggombolola y’e Mende, yagambye  nti pulojekiti eno egendereddwamu okuyambako bannakibuga naddala mu Wakiso okwettanira ensonga z’obulimu nga bakozesa ebifo ebifunda wabula nga bakozesesa ttekinolegiya akozesa amasannyalaze g’enjuba mu kufukirira.

Omukulu w’essomero lino erya Mende Kalema Memorial S.S, Musiitwa Abdul yakkaatirizza nga pulojekiti eno  bw’egenda okubayambako mu kutuukiriza ensoma empya eriwo ng’abayizi baakusoma nga bwe balabako.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!