Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi owa Kampala n'emiriraano.

Poliisi Ekutte Sandra Akola Obwa Malaaya e Kireka Asobezza ku Kalenzi ka P.5

1 minute, 31 seconds Read

Poliisi e Kireka mu munisipaali y’e Kira ekutte n’eggalira omukazi agambibwa okuba malaaya eyakkakkanye ku muyizi omulenzi owa P.5 n’amusobyako. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nga poliisi bwe yakutte Sandra Lokot atemera mu gy’obukulu 28 omutuuze w’e Kireka Zone B ng’ono avunaanibwa kwekakaatika ku kalenzi ak’emyaka 15 egy’obukulu n’akakaka akaboozi ak’ekikulu.

Onyango ategeezezza nga Khadijah Alianze, maama w’omwana ono amannya agasirikiddwa bwe yeekubidde enduulu ku poliisi oluvannyuma lw’omwana okumutegeeza nga malaaya bwe yabadde amukase okwegatta naye.

Ono akakasizza nga bwe baatutte omwana omulenzi ono mu ddwaliro n’akeberebwa ne kizuulibwa nga ddala kituufu yabadde akozeseddwa mu nsonga z’omukwano nga teyeeyagalidde.

Ategeezezza nti olw’okutya nti ayinza okuba yafunye obulwadde obw’ekikaba omuli n’akawuka akaleeta mukenenya, nti ono aweereddwa eddagala erimanyiddwa nga PEP.

Onyango agamba nti n’omukazi avunaanibwa ogw’okujjula ebitannajja naye agenda kutwalibwa mu ddwaliro akeberebwe bw’aba nga mulwadde balabe eky’okukola nga bwe bateekateeka okumutwala mu kkooti awerennembe n’omusango.

Mu kwogerako n’omwana, ategeezezza nga bwe yali ayitawo Lokot n’amukwata n’amutwala mu nnyumba ye n’amusiba emiguwa n’aggyamu engoye ze n’aye n’amwambula n’atandika okumweggwera.

Ono agamba nti wadde yagezaako okugaana eby’okwegatta n’omukazi ono, ono yamuteekako eryanyi okukkakkana ng’amukozesezza ye by’ayagala.

Kabuga Tony, omusawo akulira eddwaliro lya Vision Clinic yategezezza nti omwana ono ddala kituufu omukazi yamusobezzaako.

Khadijah Alianze maama w’omwana agamba nti yasoose kugaana kumubuulira kyabadde kimutuseeko wabula oluvannyuma n’amubuulira kwe kusalawo okugenda ku poliisi.

Bbo abatuuze basabye poliisi okubayambako ku bamalaaya abasusse mu kitundu kino abeenyigira mu bikolwa ebikosa abaana kati n’ab’obulenzi abato.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!