Kitalo! Omuzira mu Bazira wa Radio CBS Afudde!

0 minutes, 35 seconds Read

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa,  oluvannyuma lw’okufa kw’Omuzira mu Bazira owa Radio Y’obujjajja CBS FM.

Kalema Kalikyejo ye Muzira mu Bazira owa Pulogulaamu Entanda ya Buganda eweerezebwa ku Radio CBS FM ng’ono ye w’omwaka 2006.

Kalikyejo yafiiridde mu ddwaliro e Mukono nga abadde awangaalira ku kyalo Kayanja-Nnamataba ekisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono.

Ku kyalo Kayanja kuno, ku kkubo eriva e Kampala okugenda e Jinja we wali ettaka Kalikyejo lye yawangula ng’ekyapa ky’ettaka lino kyakukwasibwa Empologoma ya Buganda Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu Lubiri e Mengo.

Okusinziira ku nteekateeka, omulambo gwe bwe gunaggyibwa mu ggwanika gwakutwalibwa e Jjanya mu disitulikiti y’e Mpigi mu Ssaza lya Kabaka ery’e Mawokota gy’anaagalamizibwa ku biggya bya bajjajjaabe.

GUTUSINZE NNYO AYI SSAABASAJJA KABAKA, TWAKUUMYE BUBI.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!