Bya Tony Evans Ngabo
Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze n’abasaabaze abakozesa oluguudo lwa Kampala-Jinja akabenje bwe kagudde e Namboole ne katuga abantu abasoba mu 10 ate abali eyo mu 50 ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bataawa.
Akabenje kano akasannyalazza n’eby’entabula ku luguudo lwa Northern Bypass oludda ku ttaawo ly’e Namboole oluvannyuma lwa lukululana nnamba UBB 520H okulemererwa omugoba waayo okukkakkana ng’esaabadde emmotooka ezisoba mu kkumi wamu n’e bodaboda.
Abeerabiddeko n’agaabwe ng’akabenje Kano kagwawo bategeezezza omusasi waffle nti abantu and basoba mu kkumi be bateeberezebwa okuba nga baffiiriddewo mbulaga n’abalala abasoba mu makkumi ataano ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga biwala ttaka.
Mu kadde kano, poliisi y’ebidduka eri mu kaweefube okulaba nga bajjawo emmotooka zino mu luguudo eby’entambula bisobole okulongooka.