Youths carrying Romano's casket for burial.

Romano Valentino, Ssentebe w’ekyalo Nabuti eyakubiddwa Mutabaniwe Aziikiddwa mu Bitiibwa

2 minutes, 42 seconds Read

Nnamungi w’omuntu yeeyiye mu kuziika abadde ssentebe w’ekyalo ky’e Nabuti ekisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono ng’ono akulungudde emyaka 37 bwe ddu nga y’ali mu mitambo gy’ekyalo kino nga ssentebe.

Romano Valentino ng’afiiridde ku myaka 64 kigambibwa nti obulwadde obwamusse bwava ku nsambaggere n’okuvulungibwa mutabaniwe Monaco Valentino ow’emyaka 19 omwezi nga gumu oguyise nga yasooka kutwalibwa ku ddwaliro lya Mukono General Hospital oluvannyuma gye yaggyibwa n’ayogerwayo mu ddwaliro e Mengo gye yafiiridde ku Ssande.

Kkansala Romeo Augustine omu ku bamulekwa ng’ayogera eri abakungubazi n’okubeetondera.

Mu kuziika, abaana abakulembeddwa Julio Carol beetondedde aba famire n’ekyalo olw’obutakoma ku kuliisa kitaabwe kakanja wabula n’ab’ekyalo nga Julio y’omu ku babadde basuza ekyalo ku tebuukye ng’ababba n’asitula n’ebisimuula. Ono era ssentebe wa Mukono Central divizoni, Robert Peter Kabanda amulumirizza nga naye bw’ataamutaliza nga yamubbiramu TV ye wabula teyegaanye naye ng’amusonyiye mu lujjudde.

Ye kkansala ku munisipaali y’e Mukono, Augustine Romeo naye yeetonze ku lwa baana banne. Romeo olukongoolo alusimbye mu bannaabwe b’agambye nti be baaboogerera amafukuule eri kitaabwe n’atuuka okubakyawa.

Ba nnamwandu basatu okuli; mukulu waabwe Resty Nabawanga, Jessica Nandugga ne Masitula Romano boogedde ng’omukulu ateeredde nnamba bbiri Nandugga akaka ng’amulumiriza okuba kajiiko nattabula eyakyayisa n’abaanabe bba.

Bannamwandu abasatu, ku ddyo ye mukyala mukulu, Resty Nabawanga ng’ayogera.

Wadde mu lujjudde Nandugga agaanye okwanika obuziina bwabwe, atuzzizza ebbali ne yeekubira enduulu n’agamba nti abaana bye boogedde n’okwetonda babadde batimba bantu bbula nga bagenda kumuliisa akakanja n’abaanaabe nga bwe babadde bakola nga n’omugenzi akyaliwo n’asaba ab’eby’okwerinda okuyingira mu mbeera eno babataase nga tebannabatusaako bizibu. Ye Masituula yeetonze ku lw’abaana baabwe n’agamba nti ye talina mutawaana na mwana yenna.

Fr. John Vianney Kyeyune nga ye bwanamukulu w’ekigo ky’e Buguju y’akulembeddemu mmisa ekulembedde okuziika ng’atenderezza omugenzi ng’abadde omusajja ayagala ennyo Katonda n’abantu nga y’ensonga lwaki aziikiddwa mu bungi ddala.

Rev. Canon Geoffrey Kagoye nga y’atwala eby’enjigiriza mu bulabirizi bw’e Mukono naye ayogedde ku mugenzi ng’abadde omukulembeze omulungi atesembereza bamenyi b’amateeka.

Omubaka Betty Nambooze ng’ayogera eri abakungubazi.

Bannabyabufuzi abakulembeddwa omubaka Betty Nambooze Bakireke, eyaliko omubaka wa palamenti Johnson Muyanja Ssenyonga n’amyuka RDC w’e Buvuma, Patrick Mubiru boogedde ku mugenzi ne basaba abaana okulabira ku kitaabwe bakyuke bafuuke abantu ab’omugaso mu nsi nga kitaabwe bw’abadde.

Romano alese abaana makumi abiri nga babaddewo wabula ng’agambibwa okuvaako olumbe olwamusse, Monako tabaddeewo nga ne gye buli eno akyaliira ku nsiko.

Abakungubazi mu bungi ku ntaana gye baziise ssentebe Romano.

Ono aziikiddwa mu kkeesi etali ya bulijjo nga nnene ddala ng’ate yabajjiddwa mu mu muvule nga bagambye nti bwe yalaama. Abavubuka ab’omukyalo bagyebagazze ne batambula olugendo okutuuka gy’aziikiddwa wabula ng’abantu buli wamu babadde bajjuddewo era ffaaza tasobodde kutuuka kukola mikolo gisembayo egy’okuziika nga musomesa y’agimaze.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!