Oluvannyuma lw’ebbanga ng’abasama buli December baakomawo mu ggwanga n’emmotoka ezitemya ng’omuntu ne bajooga, omwaka guno kino kituuse obutalabikako.
Kino kiddiridde ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo ki Uganda Revenue Authority (URA) okubaggulako olutalo ne kituuka n’okwata emmotoka zino abasama ze bakomawo nazo nga zisigadde ku nnamba z’amawanga gye bava olw’obutazisasulira musolo n’abalala okuzitambuza ne basukka mu nnaku ze baasasulira.
Okusooka, URA ekutte emmotoka ekika kya Mercedes Benz GLE 350 d ey’omusama omu.
URA egamba nti mu kaseera kano abasama bayingira eggwanga n’emmotoka ezirina okusasula layisinsi y’okunguudo ey’akaseera oba giyite “Temporary Road License” wabula abamu nga nnanyini mmotoka eno bakyusa ennamba z’emmotoka n’ennamba ezawandiisibwako.
Mbu abalala basukka ennaku 90 ezibawerebwa ne batafaayo kuzza buggya layisinsi za mmotoka zaabwe.