Bya Abu Batuusa
Abakulembezze ba Nansana Division nga bakulembedwamu Mmeeya Ssaalongo Joseph Matovu ne bakkansala okuva ku mitendera egy’enjawulo baakoze bulungibwansi mu bitundu okuli Lugoba, Kazo n’ebitundu ebirala ebirinanyeewo mwe baayise okulongoosa ebifo by’olukale omuli obutale.
Mmeeya Matovu yasinzidde wano n’asaba abantu okwenyigira mu kukola bulungibwansi naddala mu kiseera kino ng’Obwakabaka bwa Buganda bweteekerateekera okukuza amazaalibwa nga Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II.
Enteekateeka eno bagitongolezza ku kyalo ky’e Lugoba naye nga beegattiddwako ne bakkansala okuva ku disitulikiti y’e Wakiso ne divizoni y’e Nansana.
Mmeeya Matovu ategeezezza nti oluvannyuma lw’okutongoza enteekateeka eno, bulungibwansi agenda kukolebwa mu bifo eby’enjawulo buli lunaku okumala ebbanga eritali ggere mu kiseera kino ng’akabonero ak’okutambulira awamu n’enteekateeka z’Obwakabaka obw’okukuza amazaalibwa ga Kabaka.
Abakulembeze bano bayeze n’okuyoola kasasiro mu myala saako n’okulongoosa akatale k’e Lugoba nga wano Mmeeya Matovu ayogeddeko eri abantu abakolera mu katale kano n’abakuutira okweyonja basobole okuwona endwadde zi nnamutta eziva ku bucaafu.
Abakulembeze basitudde ebikutiya bya kasasiro nga babikunganyiza mu kifo kimu emmotooka ya kasasiro w’egenda okubinona ebitwale gye basuula kasasiro.
Abamu ku bakkansala be twogeddeko nabo basiimye omulimu Mmeeya Matovu gw’atandise ogw’okulaba nga abantu beeyonja okusobola okwewala endwadde eziva ku bucaafu.
Ye kkansala Lydia Nakitto amanyiddwa ennyo nga Maama Sam omuzanyi wa Comedy ne Taata Sam naye asabye abantu obutasuulasuula kasasiro buli we basanze waakiri bamukungaanyize mu bukutiya aba kasasiro bwe banaasobolanga okuyitamu nga babukungaanya.