Tik Toker Pressure Asindikiddwa Luzira mu Gw’okuvvoola Kabaka

1 minute, 4 seconds Read

Omuvubuka Ibrahim Musana (27) amanyiddwa nga Pressure 24 Seven abadde yeegumbulidde okukozesa omutimbagano naddala ogwa Tiktok okuvvoola Ssaabasajja Kabaka, asomeddwa mu kkooti n’asomerwa emisango 8.

Pressure emisango gino agyegaanye n’asindikibwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga March 07, 2024.

Ono asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi, n’amusomera emisango omuli okusiga obukyayi, okukozesa obubi kkomputa n’emirala.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko lutegeezezza omulamuzi nti wakati wa August 2023 ne February 2024, Pressure ng’ayita ku mukutu gwe ogwa TikTok abaddenga avvoola Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, President Yoweri Kaguta Museveni, Sipiika wa Parliament Annet Anita Among, minister omubeezi ow’eby’empuliziganya Joyce Nabbosa Ssebugwawo n’abalala.

Musana agambye nti yali tamanyi nti ebikolwa bye byalo bivvoola Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

Ono ategeezezza kkooti mbu emizimu gya ba Ssekabaka gimusumbuwa okutereeza amasiro kyokka awandiikidde Mengo ebbaluwa teziddamu.

Agambye alina obuzibu ku bwongo era yali atwaliddwako n’e Butabika mu ddwaliro ly’abalwadde b’emitwe.

Annyonyodde mbu atawaanyizibwa empewo za Buganda omuli eza ba Ssekabaka ba Buganda nti abamulinnya ku mutwe nga bamulagira okumaliriza amasiro gaabwe.

Yeegayiridde kkooti emusonyiwe n’asuubiza obutaddamu kuvvoola bantu, era nti waakusiimuulayo obutambi bwonna obubavvoola okuva ku mukutu gwe ogwa TikTok.

Omulamuzi amusindise ku alimanda okutuusa nga March 07, 2024 lw’anazzibwa mu kkooti ng’aleese n’abantu abamweyimirira abalimu omuzinzi n’ebisaanyizo.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!