Bp. Kagodo Atuuzizza Canon Ssengendo nga Provost wa Lutikko Y’e Mukono

1 minute, 44 seconds Read

Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya e Mukono yawuumye ku mukolo gw’okutuuza Provost waayo ow’okutaano, Canon Godfrey Ssengendo. 

Canon Ssengendo yatuuziddwa omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ng’omugole yeeyamye okutumbula eby’obulamu n’eby’enjigiriza, okunyikizza enjiri mu bakkiriza, okukuuma ennono y’ekkanisa, okutumbula embeera z’abaweereza wamu n’okutondawo amakubo agavuumu ensimbi ezikola emirimu gya Lutikko gy’akulembera.

Bp. Kagodo ng’akola obumu ku bulombolombo bw’ekkanisa obugobererwa mu kutuuza Provost.

Mu gumu ku mirimu Canon Ssengendo gye yeeyamye okutuukiriza, gwe gw’okuzimba Lutikko empya egenda okudda mu bigere by’eyo enkadde eyazimbibwa ba jjajjaffe emyaka egikunukkiriza mu 90.

Provost wa Lutikko ya All-Saints e Nakasero mu kibuga Kampala, Rev. Canon Dr. Rebecca Nyegenye ng’abuulira mu kusaba kuno yeekokkodde baweereza banne abavudde ku mulamwa ne bayingirira bye yayise ebiguluupu oba ebikoosi ebikyamu ebiboononye, abamu ne batuuka n’okukola ebyo ebikontana n’ennono za Katonda era ebivumaganya ekkanisa.

Can. Nyegenye alabudde Canon Ssengendo okwewalira ddala ebyo ebiyinza okumuviirako okuwaba era afube okuwuliranga eddoboozi lya Katonda okusobola okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa obumukwasiddwa.

Ono akyukidde n’abakkiriza n’abatabukira okuyigiriza abaweereza amalala nga babawaanawaana n’okubawaniikiriza n’ebigendererwa bbo bye baba bamanyi ate bwe bamala okuwaba nga baboogerera n’okuwuvirira ekkanisa ya Kristo.

Mu ngeri y’emu Can.Nyegenya ategeezezza nti ekimu ku biviiriddeko amaka okusasika ennyo ensangi zino be bakkiriza oba abafumbo okuva ku Katonda.

Abamu ku bakulisitaayo abeetabye mu kusaba kuno.

Omumyuka wa Ssekiboobo ow’okubiri nga ye mwami wa Kabaka akulembera e Ssaza Kyaggwe Fred Katende asinzidde ku mukolo guno n’awera nga bbo abakulembeze mu ssaza Kyaggwe bwe bagenda okukolaganira wamu n’ekkanisa n’obulabirizi bw’e Mukono bwonna okutwalira awamu kub a bonna abantu be baweereza be bamu.

Omukolo guno gwetabiddwako n’abalabirizi abaawummula okuli Elia Paul Luzinda Kizito, James William Ssebaggala ne Dunstan Kupliano Bukenya.

 

 

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!