Abavubuka Babiri Basimattuse Okuttibwa lwa Bufere

Poliisi y’e Mukono eyitiddwa bukubirire okutaasa abavubuka babiri abagambibwa okudda kw’omu ku batuuze ku kyalo Nassuuti omukyala amannya agataategeerekese ne bamufera ne bamubbako esnimbibi ze eziwera ddala. Kigambibwa nti bano oluvannyuma lw’omulundi ogwasooka okufera omukyala ono ne bibagendera bulungi, nti era abaabadde bakomyewo batandikire we baakoma olwo naye ne yeekubira enduulu abatuuze babasalako ne babakuba […]

Gov’t Hands Over Nine Vehicles to Local Gov’ts Under Greater Kampala Metropolitan Area

The Ministry of Local Government witnessed a significant milestone as Minister  Raphael Magyezi and Permanent Secretary, Ben Kumumanya handed over nine vehicles to the nine implementing entities of the Greater Kampala Metropolitan Area. These entities include Kampala, Mukono, Wakiso, Mpigi, Nansana, Kira, Entebbe, Makindye Ssabagabo, and Kampala in their respective municipalities. Uganda has embarked on […]

Minisita Mayanja Alagidde Ssaabalabirizi Kazimba Okumenyawo Ekkanisa Eyazimbibwa ku Ttaka Erikaayanirwa Abatuuze-Ekkanisa Emwanukudde!

Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja alaze obutali bumativu olw’ekkanisa okumenya amayumba g’abatuuze n’okusendawo ebibanja byabwe n’ezimba ekkanisa galikwoleka. Obutali bumativu Minisita Mayanja yabulagidde ku kyalo Kirangira ekisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono abatuuze bwe baamukaabidde amaziga mu maaso nga bagamba nti omusumba atwala ekkanisa ya St. Luke e Kirangira, Rev. Rogers Kityo […]

Maneja wa loogi akwatiddwa lwa kulemesa babala bantu-IPAD bbiri zibbiddwa

Ab’eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Mukono nga nga bakulembeddwa RDC Hajjat Fatuma Ndisaba Nabitaka nga bali wamu n’abakola ku gw’okubala abantu mu disitulikiti ne munisipaali y’e Mukono baliko maneja wa loogi emu gwe bakutte n’atwalibwa ku poliisi e Mukono n’aggalirwa ng’avunaanibwa kulemesa nteekateeka ya kubala bantu mu kifo kino. Peace Namakula maneja wa Gofret Motel e […]

Provost wa Lutikko e Mukono Akunze Ab’amawulire Okugenda mu Maaso N’okwanika Abanene mu Gov’t Abava ku Mulamwa

Buli May 3, lwe lunaku lw’eddembe ly’ab’amawulire olw’ensi yonna. Mu mbeera eyo, ab’amawulire abakakkalabiza emirimu gyabwe mu mikutu egy’enjawulo nga basinziira mu bbendobendo ly’e Mukono beegasse ku bannaabwe okukuza olunaku luno. Bano bakungaanidde ku lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya mu kibuga Mukono mu kusaba okukulembeddwa Provost wa Lutikko eno, Godfrey Ssengendo ng’ayambibwako Vviika wa Lutikko, […]

Bp. Kagodo Atuuzizza Canon Ssengendo nga Provost wa Lutikko Y’e Mukono

Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya e Mukono yawuumye ku mukolo gw’okutuuza Provost waayo ow’okutaano, Canon Godfrey Ssengendo.  Canon Ssengendo yatuuziddwa omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ng’omugole yeeyamye okutumbula eby’obulamu n’eby’enjigiriza, okunyikizza enjiri mu bakkiriza, okukuuma ennono y’ekkanisa, okutumbula embeera z’abaweereza wamu n’okutondawo amakubo agavuumu ensimbi ezikola emirimu gya Lutikko gy’akulembera. Mu gumu ku mirimu […]

Nuliat Nakangu Kyazze Awangudde Empaka Z’obwannulungi ez’essaza Ly’e Kyaggwe

Empaka z’obwannalulungi ezimaze ebbanga nga ziyindira mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaggwe kya ddaaki zikomekkerezeddwa. Abawala ababalagavu 10 be batuuse ku z’akamalirizo ku mukolo oguyindidde ku Bredo Hotel mu kibuga Mukono.  Omumyuka wa Ssekiboobo nnamba bbiri omugole ekyaliko n’omuzigo, Fred Katende y’abadde omugenyi omukulu ku mpaka zino ng’abasazi baazo bayokyezza abavuganyizza ebibuuzo ku nsonga ez’enjawulo […]

Poliisi Y’e Mukono Eggalidde Munnansi W’e Jamaica Eyaloopye Abaamubbidde ku Star Gardens

Poliisi y’e Mukono yeefuulidde munnansi wa Jamaica bwe yaddukiddeeyo okuloopa omusango gw’okumubbako ssente ne ttiketi y’ennyonyi mu kifo ekisanyukirwamu wabula ate abasirikale ne baggaliramu ye. Audrey Williams (29) enzaalwa y’e Jamaica ng’agamba nti abeera Canada ye yeekubidde enduulu ng’ayagala okuyambibwa olw’abasirikale ku poliisi e Mukono okumwefuulira ne batamuyamba bwe yagenzeeeyo nga bamubbyeko ensimbi ezisoba mu […]

NEMA Destroy, Evict Pentecostal Church Out of Wetland 

National Environment Management Authority (NEMA) in conjunction with Environmental Police have destroyed property worth millions of money as it evicted a Pentecostal church out of a wetland located at Seeta in Mukono Municipality.  NEMA identified the evicted church as Blood of Jesus Ministries International located opposite Seeta High School Main Campus along Kampala-Jinja highway. The […]

error: Content is protected !!