Kalidinaali Wamala Agabudde Bazzukulu be Ekijjulo

1 minute, 46 seconds Read

Bya Tonny Evans Ngabo

Nga buli ennaku z’omwezi 27 mu mwezi gwa Ntenvu (December), bazzukulu ba Kalidinaali  Emmanuel Wamala bakungaanira mu maka g’e Nsambya mu Makindye divizoni mu kibuga Kampala ku mukolo ogumanyiddwa nga Cardinal Wamala Family Day Out ng’ono ku mukolo guno w’abagabulira ekijjulo.

Kalidinaali Wamala mu kifaananyi ekya wamu ne bazzukulu be omuli ne Minisita Muyingo.
(Ebifaananyi byonna bya Tonny Evans Ngabo.)

Omukolo guno ogwabaddewo ku Lwokusatu gwatandise na kitambiro kya mmisa ekyakulembeddwamu muzzukulu we Fr. Bonaventure Ssebyanzi Wasswa. Fr. Wasswa yakubirizza ab’oluganda okusigala nga banywevu n’okusabira Kalidinaali Katonda amwongere obuwangaazi.

Yagambye nti obulamu bwa Kalidinaali bufaananira ddala obwa Yowana eyafa obukadde ate yali ku lusegere lwa Kristu bbanga lyonna n’asaba buli omu okukolera okubeera okumpi n’omukama ekiseera kyonna.

Ono era yakkaatirizza obukulu bw’okwagalana n’olunaku luno n’agamba nti lubayamba okwongera okunyweza omukwano gwabwe n’okukkiriza.

Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala yeebazizza Katonda olw’ekirabo ky’obulamu ky’amuwadde nga mu kiseera kino yaakalya Ssekukkulu 97 bwe ddu.

Kalidinaali Wamala nga bw’afaanana kati ku myaka 97.

Minister omubeezi avunanyizibwa ku matendekero aga waggulu Dr John Chrysostom Muyingo naye yalaze essanyu n’okwebaza Katonda olw’ekirabo ky’obulamu ky’awadde Kalidinaali ne yeegatta ku balala okujjukiza abakkulu okumuteekanga mu ssaala zaabwe buli lunaku.

“Kalidinaali atuyambye okukula n’okukakata mu bulamu obw’omwoyo. Olwa leero  ku ffe teri akwatibwa nsonyi kukuba kabonero ka musaalaba wadde okwenyigira mu mmisa n’okusaba Katonda mu lwatu,” Minisita Muyingo bwe yategeezezza.

Yasabye Abakristu okukomya okwesuulirayo ogwa nnaggamba ng’enteekateeka za gavumenti zibatuseeko mu byalo gye babeera oba mu disitulikiti zaabwe ate ne badda mu kukolima ekitalina kye kibayamba.

Ono abakunze okuva mu tulo ng’eno Katonga ajjula wabula bagolokoke mangu bajjumbire enteekateeka za gavumenti naddala ez’okwekulaakulanya okusinga okwekwasanga ensonga ezitali zimu ng’eno obwavu bwe bwongera okubeegiriisizaako.

Omukulu w’esssomero lya St. Joseph S.S Naggalama, Agnes Nsubuga ne Msgr. Charles Kasibante be bamu ku bataalutumiddwa mwana.

Kalidinaali ng’ayogera eri bazzukulu be.

 

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!