Omuyimbi w’ennyimba z’omukwano David Lutalo ayongedde okweraga eryanyi oluvannyuma lw’okukuba Cricket Oval e Lugogo n’agifukamiza ate n’alumba n’e Mukono ku Colline Hotel n’akola kye kimu.
Wadde Lutalo tali mu bayimbi abeesoma nga bwe bali ab’amaanyi era abeepikira ono oba oli mu battle, engeri gy’ayimba, ennyimba ze kumpi ezisoba mu 100, engeri buli luyimba gye lulinamu amakulu n’okukwata ku bantu nga n’ezandibadde ez’ennaku bw’akiyimba abantu basituka ne bazina, ayongedde okulaga ng’ono omukulu ali mu kiti kikye.
Bwe tudda ku Colline Hotel, omuyimbi akyasinze okugiggyuzaamu abantu yali Eddie Kenzo bwe yali mu kivvulu ekyasookera ddala e Mukono nga baakaggulawo eggwanga okuva mu muggalo gwa COVID 19. Ku Lwomukaaga nga September 30, 2023, Lutalo yakoze ebyafaayo ku Colline Hotel ebibadde bitannabaawo.
Ono yasombodde abantu, bayite abadigize okuva e bule n’e bweya ne beeyiwa wano okumulaga obuwagizi n’omukwano. Bbo abamu ku bayimbi abaamuwereddeko bakira batenda butenzi nga kye balaba tebakikkiriza.
Lutalo eya yakwekudde n’eyali Minisita omubeezi ow’amazzi mu ggwanga, Ronald Kibuule gy’abadde abulidde okumala kumpi ebbanga lya myaka egisoba mu ebiri. Wabula Kibuule yakomeddewo mu vvayibu nzibu nnyo ng’agaba ensimbi ate bizike byokka na ddoola. Mu baafunye omukisa okwefunira ku ddoola z’omukulu, ye Lutalo yennyini omuyimbi w’olunaku ng’ono olwasuddemu oluyimba lwa Wa gye tugenda, Kibuule n’ava mu kifo ky’abakungu (VIP) gye yabadde atudde n’agenda ku siteegi ne zidda okunywa.
Eno olwatuuse n’agwa Lutalo mu kafuba n’amusika mu mukono olwo n’agwa e kasawo n’aggyayo ebbaasa eyabaddemu omusimbi nga bwa mitwalo etaano etaano abasinga ze baakazaako ebizike n’amubalira ku ddoola ng’ebizike bwe biwandagala era Lutalo teyeekuluntazizza, nabyo yasse wansi n’abirondawo kimu ku kimu.
Kibuule kumpi ebbanga David Lutalo lye yamaze ng’ayimba yalimazeeko ng’asala ndongo mu VIP gye yabadde atudde ng’obwedda olumu ne Nnaalongo we asituka ne balya omuziki ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri, anti nga bakimanyi obulamu bwa kiseera. Ono ne ku mulundi ogw’okubiri nga Lutalo akomyewo eya yagenze ku siteegi n’azina naye.
Lutalo yalinnye ku siteegi ssaawa ttaano n’eddakiika 49 (5:49) mu kiro n’akuba endongo n’atuuka ekiseera n’asooka addayo n’akyusa olwo ate n’akomawo envuunula bibya n’agenda mu maaso n’okuyimba okukkakkana ng’abannyudde ssaawa mwenda nga kumpi n’obudde buvuddeko eddiba, ngamba okuba nga bugenze kukya.
Lutalo yawerekeddwako abayimbi bangi ate ab’amaanyi omuli Mesach Ssemakula, Spice Diana, Betty Mpologoma, Coco Finger, Kapa Cat, Haruna Mubiru n’abalala bangi.
Bukedde be bamu ku baatadde ensimbi mu kivvulu kino ng’era Lutalo yabasiimye n’agamba nti ebbanga lyonna babadde batambula naye nga buli kivvulu kye kye bataddemu omukono kibaddenga kiba kyamaanyi ng’era kino bwe kyabadde.
Ng’ababaddengawo ku bivvulu bya Lutalo kumpi byonna by’azzenga ategeka e Mukono, kino kye kikyasinze okuba eky’enkizo mu bintu bingi okuviira ddala ku bantu abangi, entegeka ey’obutakandaaliriza bantu oluusi ne ba MC aboogera n’abantu ne batuuka okukoowa, emizindaalo n’amataala ebyabadde ku muzuuli n’ebirala bingi.