Nga Poliisi erwana obwezinzingirire okulaba ng’ekwata buli muntu eyeenyigira mu lukwe olw’okutta abadde omukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa, kaweefube waayo ow’okunyweza omusajja gwe bagamba nti ye yaluka olukwe luno yasooka n’agwa butaka, ono bwe yabagwa mu buufu ne yeemulula ebigere n’abinnyika mu nsuwa ne yeetegula ekibabu oba oly’awo ekyosi kimale okuyita.
Wabula ensonda za poliisi zitegeezezza nga Tabula Luggya Bbosa ng’ono okunoonyereza kwabwe gwe kwetooloolerako bwe bamaze okumuzingiza mu bizinga by’e Kalangala gye yaddukidde nga kati bassajja baayo abawanvu n’abampi bali mu kufuuza buli wamu okutuuka n’ebuziizi nga balina essuubi nti ssaawa yonna baamukumukwata nga nseenene bamuvunaane.
Poliisi yalondodde Tabula ng’ekozesa ttekinologiya alondoola amasimu n’eraba entambulaye yonna okuva ettemu lya Ying. Bbosa libeerawo nga gye byakkidde nga balaba ali mu bizinga by’e Kalangala gye yeekukumye.
Wabula olwa nneetiwaaka mu bizinga etali nnungi, Tabula yabuze oluvannyuma lw’okutuuka e Kalangala nga mu kiseera kino poliisi yamaze okuyungula abawanvu n’abampi bali Kalangala bamufeffetta.
Bwino alaga nga Tabula Luggya Bbosa abadde ku mbiranye ne Ying. Daniel Bbosa ng’entabwe eva ku musango gwe yamuloopa mu kkooti ya Buganda eya Kisekwa ng’omusango gwasalwa ng’aguwangudde kyokka Ying. Bbosa n’ajulira ewa Kabaka ng’era okusalawo kwa Kabaka kubadde tekunnafuluma, nga waakayita emyaka ebiri, olwo ate abazigu ab’emmundu ne basindirira Lwomwa amasasi agaamuttiddewo.
Lwomwa Bbosa yattiddwa ku Ssande nga February 25, 2024 e Lungujja mu divizoni y’e Lubaga mu kibuga Kampala kinnya na mpindi n’amaka ge. Ono yaziikiddwa ku Ssande nga March 3, ku butaka bw’ekika ky’Endiga e Mbale mu Mawokota.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi, Fred Enanga, Ying. Bbosa yattibwa abavubuka okuli Enock Sserunkuuma ne Noah Luggya abaamulondoola okuva e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono gye yali ava okulambula ku bazzukulu be. We baamuttira, mu mmotoka Lwomwa yalimu ne mukyalawe Gladys Bbosa n’omuyambi we.
Omu ku batemu bano, Enock Sserunkuuma abantu baasobola okumuzingiza ne bamukuba ne bamutta sso ng’ate munne Noah Luggya baamukuba n’asigalako kikuba ku mukono poliisi n’esobola okumutaasa n’emitwala e Mulago mu ddwaliro ng’ajjanjabirwa wakati mu bukuumi obw’amaanyi.
Enanga era yalaga nti yasobola okufuna essimu ya Luggya okuva mu kifo we baabakwatira ng’eno nayo bagikozesezza n’ebayamba okubeerako kalonda gwe batuukako mu kunoonyereza ku musango guno.
Poliisi yaakakwata abantu musanvu mu kunoonyereza kwayo abeekuusa ku ttemu lino, omuli Liggya, omuwandiisi wa kkooti ya Buganda eya Kisekwa, Milly Naluwenda n’abalala nga n’okusinga bava mu kika kino eky’Endiga.
Engeri poliisi gy’ezze erondoola entambula za Tabula
Bambega ba poliisi bwe baalondodde entambula za Tabula okuva e Mpigi mu maka ge, baakizudde nga yeekukumye mu bizinga by’e Kalangala. Bwe yavudde e Mpigi agasangibwa ku lusozi Kulumba awali obutaka bw’ekika ky’Endiga, bambega baakizudde nti yatuukidde Katosi mu disitulikiti y’e Mukono mu maka ga kkojja we.
Ddayirekita wa poliisi ow’ekitongole ekikessi, Brig. Gen. Christopher Ddamulira yagambye nti okunoonyereza kwa poliisi kulaga nga Tabula bwe yavudde ewa kkojjaawe yalinnye eryato n’ayolekera ewa nnyina omuto mu bizinga.
Brig. Ddamulira agamba nti nnyina wa Tabula ali ku kizinga e Kkoome ng’ewuwe waliyo n’amasabo mangi ng’era Tabula abadde agendangayo nnyo nga bakola ku nsonga zaabwe ez’obwa Lwomwa.
Ensonda ziraga nti bwe yatuuseeyo, baakoze emikolo egy’okusamira nga bagezaako okusiba omusango gw’okutemula Lwomwa wadde ng’ate omusango gwabadde gwasajjuse dda.
Okuva e Kkoome, Tabula yeeyongeddeyo e Kalangala, ng’eno yasibidde ku kizinga ku mwalo gw’e Bumangi oba e Buggala ng’eno gye bali mu kumufeffetta obuyiso.
Ab’eby’okwerinda beebuuza nti bwe kiba nga ddala Tabula talina musango, nsonga ezandibadde zimuviirako okuliira ku nsiko!
Brig. Ddamulira agamba nti baagala Tabula annyonnyole emmundu eyakozesebwa mu ttemu lino yava wa n’ensonga endala nnyingi. Kigambibwa nti oluwenda olw’abantu abeenyigira mu kuteekateeka ettemu lya Ying. Bbosa lukyali lugazi, nga n’abamu bali Mengo.
*Source – Olupapula lwa Bukedde*