Ebika 8 Byanjulidde Olukiiko Lw’abataka mu Buganda ba Katikkiro Baabyo Abaggya

1 minute, 59 seconds Read

BYA BRENDA NANZIRI

Omukubiriza w’olukiiko lw’abataka ba Buganda, Omutaka Namwama Augustine Mutumba asabye abakulebenze mu bika okukola ebyo ebiweesa  Obuganda ekitiibwa.

Bino Namwama abyogeredde mu lukiiko ba jjajja ab’ebika eby’enjawulo mwe banjulidde ba Katikkiro baabwe wamu n’ababamyuka baabwe nga luno lutudde mu bimuli bya Bulange e Mengo. Omutaka Namwama Augustine Mutumba, Bulange e Mengo, Ebika by’Abaganda, 

Ebika munaana bye bikiise embuga okwanjula abakulembeze baabyo abaggya okubadde ab’Endiga, Ababiito be Kabulala, Ab’Empeewo, ab’Enkusu, ab’Empologoma, ab’Akasimba, ab’Engo n’Engabi e Nsamba.

Ba jjajja abukulira ebika bino be baanjudde ba katikiiro baabwe eri olukiiko era ne baanirizibwa omutaka Namwama mu butongole.

Ba Katikkiro abeegasse ku lukiiko lw’abataka basuubizza okutambuza emirimu gy’obuwangwa mu bika byabwe gisigale nga gigenda mu maaso, okukunga abazzukulu ssaako n’okutumbula eby’emizannyo nga basinziira mu bika byabwe.

Abamu ku bakatikkiro n’abamyuka abanjuliddwa kubaddeko; Fredrick Nkonge, Paul Kiyingi Luwombo ne Haji Musa Mpungu ku lw’ekika ky’Endiga, Omulangira Kityo Stephen n’omulangira Sowedi Walugembe ku lw’Ababiita b’e Kibulala, Joseph Waggala Lubanga ne Haji Wamala Moses ku lw’ekika ky’Empeewo, Joseph Yiga ne Sseguya Everest ku lw’ekika kyEngabi n’abalala.

Abalala ye; Erick Jjuuko Musoke ne Isaac Mwenge ku lw’ekika ky’Empologoma, Ssenyonga Henry Nkonge ku lw’ekika ky’Enkusu, Lubowa Ssebina Gyaviira ne Nelson Kalyango ku lw’ekika ky’Engo ne Edward Lwanga Buyondo ku lw’ekika ky’Akasimba.

Bano batonedde olukiiko ebirabo eby’enjawulo okubadde emmere ey’ekinnansi, omwenge omusongole, ensimbi enkalu n’ebirala bingi.

Jjajja Namwama asiimye Abaganda abavaayo ne bakola ekisoboka okusobola okugatta ettoffaali ku nkulaakulana y’ebika byabwe n’obuwangwa okutwalira awamu.

Wabula ono avumiridde ebika ebisusse okubaamu entalo ezituuse n’okuvaako okuyiwa omusaayi nga wano anokoddeyo n’olutalo olwaliwo omukulu w’ekika ky’Engabi ne batuuka okumukasukira ebintu ebweru.

Asinzidde wano n’asaba ab’eddira Engabi okuvaayo bakole kyonna ekisoboka okulaba nga Jjajja Nsamba bamufunira w’abeera.

N’Omutaka Mbirozankya nga y’akulira ekika ky’Efumbe asabye ab’ekika ky’Engabi okwekolamu omulimu okulaba nga Jjajjaabwe Nsamba bamuyamba okufuna w’abeera oluvannyuma lw’okukolebwako obulumbaganyi obwavu mu ba ffamire ne bamukasukira ebintu ebweru n’ennyumba mwe yali abeera ne bagimenya.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!